
Bya Samuel Stuart Jjingo
Bulange – Mmengo
Aba Kampala Hash Harriers nga bakuliddwamu Omulangira David Kintu Wasajja badduse emisinde gya Kabaka Birthday Run egy’ omwaka 2025 okujjukira Amazaalibwa ga Beene ag’ emyaka70.
Bano Kamalabyonna Mayiga yabasimbudde era namwebaza olw’ okujjumbira enteekateeka eno buli mwaka kyagambye nti kigatta kinene ku lutabaalo Nnyinimu lwaliko olw’ okulwanyisa Mukenenya.
Kinajjukirwa anti aba Kampala Hash Harriers badduka buli mwaka buli luvannyuma lw’emisinde emikulu egitegekebwa Obwakabaka bwa Buganda okukuza amazaalibwa ga Kabaka.

Mukuumaddamula bano era abalabudde ku bulwadde bwa mukenenya nasaba abasajja okutwala obuvunaanyizibwa okukuuma omwana omuwala aleme kukwatibwa mukenenya olwo siriimu ajja kusobola okugobwa mu ggwanga.
Ono agattako nti tewali ky’ oyinza kuwangula mu bulamu okuggyako nga okiddinganye y’ensonga lwaki emisinde bagidduka buli mwaka okusobola okutuuka ku buwanguzi bw’ okumalawo endwadde ezitawanya bannayuganda.










