Bya Shafic Miiro
Bulange – Mmengo
Bbanka ya I & M bazizza buggya endagaano yabwe n’Obwakabaka bwa Buganda era nebeeyama okwongera okutumbula embeera z’abantu b’Omutanda nga bayita mu kuvujjirira Emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka n’enteekateeka endala.
Omukolo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri nga Ssenkulu wa Majestic Brand, Omuk. Remmy Kisaakye, yatadde omukono ku ndagaano ku lw’Obwakabaka ate Ssenkulu wa Bbanka eno, Robin Bairstow n’ateekako ku lwa I & M bank nga Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa abaddewo okujulira endagaano eno.
Bw’abadde ayogerera ku mukolo guno, Owek. Waggwa Nsibirwa, yeebazizza bannamikago bano olw’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka ate n’okufaayo mu kusitula omutindo gw’embeera z’abantu, bwatyo n’abakulisa n’okutuuka ku myaka ataano nga baweereza abantu.
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone, Owek. Robert Serwanga Ssaalongo, naye yeebaziza bannamukago aba I & M olw’okuvaayo okuwagira emisinde gy’omwaka guno, era ategeezeza nti kizzaamu amaanyi okulaba ng’abantu bategedde obukulu bw’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka naddala ku nsonga y’Ebyobulamu ng’okukwanyisa Mukenenya.
Ssenkulu wa I & M bank Omuk. Robin Bairstow agamba nti basanyufu nnyo okwegatta ku kaweefube w’okulwanyisa Mukenenya kubanga baagala abantu be baweereza babeere balamu, era basuubiza okwongera okuwagira emirimu gy’Obwakabaka emyaka emirala mingi.
Omukolo guno gujjuliddwa abantu abalala okubadde Oweek. Israel Kazibwe Kitooke Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Omuk. Rolland Ssebuufu, Ssenkulu wa BICUL ne Muky. Annet Nakiyaga kitunzi wa bbanka.