
Bya Ronald Mukasa
Bulange -Mmengo
Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga yeebazizza nnyo abasawo b’amannyo okuva mu I Dental Care clinic, abakyadde embuga enkya ya leero okuwagira enteekateeka z’emisinde gy’ amazalibwa ga Kabaka egy’okubeerawo nga 7 omwezi ogw’okuna.
Owek Sserwanga agamba nti ekikolwa kyabwe kibeere eky’okulabirako eri banaabwe bwebakola emirimu gy’ebyobulamu kubanga ffena tuvunaanyizibwa okubaako kyetukola okuza Buganda kuntiko.
Minisita era akunze obuganda okuwagiranga abantu bavuddeyo okuwa obuwaguzi enteekateeka z’embuga kubanga kyebakola kyoleka obuwulize eri Nnamulondo.
Dr Musis Ibrahim akulembeddemu aba I Dental care hospital, akunze obuganda okujja mubungi okwetaba butelevu mumisinde gino kulw’obulamu obulungi nga Nnyinimu bwaze akubiriza abantu be.
Bano baguze emijoozi gya bukadde bw’ensimbi 2 era nebeeyama okwetaba mumisinde gino.