Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Kampuni ekola eby’okunywa eya Buganda Kombucha etonedde ekitongole ki Kabaka Foundation emmotoka Agafemulago (Ambulance) eyambeko mu kutaasa obulamu bwa bannayuganda naddala mu byalo.
Omukolo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Mmande nga nannyini kampuni eno, Emmanuel Muhumuza yagikwasizza Minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu Owek. Cotilda Nakate Kikomeko.
Bwabadde akwasibwa Ambulance eno, Minisita Nakate Kikomeko, ategeezezza nti obwetaavu bungi mu by’obulamu, omuli eddagala, abasawo, Ambyulensi, kubanga abantu betaaga obujjanjabi obumatiza basobole okuwona n’okutumbula embeera zabwe.
Owek. Kikomeko annyonyodde nti Ssaabasajja Kabaka ayagala omuwendo gwabasawo gweyongere, era waliwo enteekateeka okukubiriza abazadde okuyingiza abaana mu misomo gyebyobulamu bafune obukugu okumalawo ebbula ly’abasawo.
Ono agamba nti enteekateeka eno ejja kuyambako nnyo bano basobole okujjanjaba abantu nga basinziira mu malwaliro g’Obwakabaka agali mu kuzimbibwa naago agaazimbibwa edda.
Ye Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Edward Kaggwa Ndagala, agambye nti mmotoka eno yakubayamba okutuuka ku bantu wansi yonna gyebali basobole okutaasa obulamu bw’abantu kubanga Beene abantu be abaagala balamu.
Alaze kaweefube w’okugaba omusaayi mu masaza ga Buganda watuuse n’engeri gyayambyeko okutaasa obulamu bwa bannayuganda era nga waliwo obwetaavu obwokufuna ebikozesebwa eby’enjawulo nga ne Ambyulensi mwogitadde.
Ye Nannyini Buganda Kombucha, Emmanuel Muhumuza agamba nti guno mukisa gwamaanyi okubaako ettofaali lyagatta ku nkulaakulana y’abantu ba Kabaka.