Bya Ssemakula John
Kampala
Abakulembeze mumulimo gwa Boda Boda okuva mu ggombolola ettaano ezikola ekibuga Kampala batutte Loodimmeeya wa Kampala, Salongo Erias Lukwago mu kkooti nga bamuvunaana okulemesa enteekateeka y’okubawandiisa.
Bano nga bakulembeddwa Ssentebe wabwe, Siraje Mutyaba bagamba omulimo gwabwe guzze gufuna okusomoozebwa nga eky’okuwandiisibwa nteekateeka nnungi egenda okubayamba okuteekerwateekerwa nga tebamanyi lwaki Lukwago agyekiikamu.
Kati bano Lukwago bamuwadde ennaku 3 zokka nga amenyeewo ebigambo byeyayogedde ku nteekateeka y’okubawandiisa oba si kyo bawerenembe naye mu mbuga.
Kino kiddiridde Omuloodi Erias Lukwago okuwera nga bwagenda okukuba ekitongole ki KCCA ne Minisita Kabuye Kyofatogabye n’abakulu abalala mu mbuga nga abalanga okuwandiisa aba boodabooda mu bukyamu.
Kinajjukirwa nti gavumenti enteekateeka y’okuwandiisa abagoba ba booda booda mu Kampala yagukwasa kampuni eya Uganda Driving Standard Agenccy (UDSA) nga buli muvuzi wa Booda Booda asuubirwa okusasula emitwalo gya siringi 6 okusobola okusomesebwa.
Kino Loodimmeeya Lukwago akiwakanya wadde abamu ku ba boodabooda bagamba nti bweba yengeri yokka gyebasobola okusigala nga bakolera mu kibuga Kampala ensimbi zino bajja kuzisasula basobole okubangulwa.