URN
Abawagizi b’omubaka wa palamenti akiikirira Kyaddondo ey’obuvanjuba ng’ono ayagala kuvuganya ku kifo kyamukulembeze w’eggwanga balemeseddwa okukuba olukungaana lwabwe e Gulu. Okusinziira ku mubaka wa pulezidenti e Gulu, Maj. Santos Okot Lapolo, abawagizi ba Bobi Wine akulira ekisinde ky’ebyobubufuzi ekya People Power, baalemereddwa okutuukiriza obukwakkulizo nga bwebaalagirwa akulira Poliisi mu ggwanga Martin Okoth-Ochola nga bagoberera etteeka erirungamya enkugaana erya Public Order Management Act. Bino nga tebinabaawo, Kyagulanyi yabadde yategeezezza bannamawulire mu Kampala nti yabadde asazizzaamu okugenda e Gulu oluvanyuma lw’abebyokwerinda okutiisatiisa abawagizibe. Maj. Lapolo yanyoyodde nti olukiiko lw’abebyokwerinda n’akulira wooteeri ya De Covenant, Tonny Kitara, wamu n’abantu ba Bobi Wine, baazudde emiwaatwa mu nteekateeka muli n’okulemererwa okulaga nti ekifo olukungaana werwabadde lugenda okubeera weekusifu bulungi. Wabula
Tonny Olanya Olenge, omukwanaganya wa People Power mu kitundu kye Acholi yagambye nti baafunye ekifo ekirala wabula nga ab’ebyokwerinda nebagaana okukirambula okulaba nga kisaana. Omubaka w’ekibuga ky’e Mityana Francis Zaake Butebi omu kubaabadde bamaze okutuuka e Gulu yanakuwalidde nnyo ab’ebyokwerinda okulemesa olukungaana lwabwe. Eggulo, Bobi Wine era yalemeseddwa okukuba olukungaana lw’e Gayaza nga poliisi egamba nti yabadde tatuukirizza obumu kubukwakkulizo b’okukuba olukungaana. Muno mwabaddemu obutaba na kabuyonjo abantu mwebanagenda, saako obuuma obukebera bbomu. Poliisi era yagambye nti Bobi Wine teyakkirizibbwa kutegeka nkungaana mu bibangirizi wabula mu bifo ebyekusifu nga wooteri.