
Bya Ssemakula John
Bwende – Buddu
Omutaka Kannyana Kiwana Daniel akubirizza abazzukulu okukola ennyo beggye mu bwavu era banywerere ku nnono zabwe kubanga ze zibafuula Abaganda abajjuvu.
Jjajja Kannyana obubaka buno abuweeredde ku butaka e Bwende mu Buddu mu Ttabamiruka n’okumanyagana ku Lwomukaaga wansi w’omulamwa, ” Obumu, obukulembeze n’obuvunaanyizibwa bwa buli muzzukulu okuva ku nju okutuuka ku Kasolya.
Mungeri eyenjawulo, Omutaka yeebazizza nnyo Katikkiro w’Ekika Dr. Abaasi Kabogo Mukyondwa wamu n’Omuwanika era Omwogezi w’Ekika Omukungu Muyunga Stephen olw’obuweereza n’obukulembeze obulungi obuyayambye enyo Ekika okutuuka ku buwanguzi obwenjawulo.

Abazzukulu beebazizza nnyo Omutaka Kannyana olw’obukulembeze obulungi era beeyamye mu maaso ge okukola kyonna ekisoboka okuwanirira n’okwenyigira mu nteekateeka z’Ekika zonna.
Ekika nga kiyita mu Katikkiro, kye bazizza nnyo Omuwanika era Omwogezi w’Ekika Omukungu Muyunga Stephen olw’obuweereza bwonna bwakola eri Ekika obweyogerera nga bulabibwa buli muntu obuyambye ennyo ekika okutuuka ku buwanguzi obwenjawulo.
Mu ngeri eyenjawulo, Ekika kye bazizza nnyo Dr. Deo Bukenya Byandaala n’Omwami Ssekyondwa Francis olwokuwagira enteekateeka z’Ekika mu ngeri eyenjawulo.
Omukolo gwetabiddwako bannaddiini eb’enjawulo okuva mu Kika ky’Engabi Ennyunga, Naalinnya wa Ssekabaka Kateregga era Lubuga we n’abazzukulu abalala bangi.









