
Ababaka b’Olukiiko lwa Buganda ku kakiiko k’Ebyettaka, Obulimi, Obutondebwensi n’Obweggasi batandiseewo emmerezo y’emmwaanyi ku Mbuga y’Essaza Kyaggwe okusobozesa abantu ba Kabaka okusomesebwa n’okwnguyirwa okufuna endokwa z’emmwanyi.
Minisita Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo owa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula yakulembeddemu ababaka bano, era oluvudde ku Mbuga y’Essaza gye baaniriziddwa Ssekiboobo Vincent Matovu, ne boelekera Eggombolola Ssaabaddu Ntenjeru gye balambudde ennimiro y’emmwanyi n’amatooke ya Mw. Lubega Philly ng’ono ye mulimisa w’Essaza Kyaggwe.

Ababaka bano era bakyaddeko mu bitongole okuli; NARO ekinonyereza ku byobulimi ne NaCORI, nga kino kilondoola akatale k’ebirime nga emmwanyi, cocoa n’ebirala
Okulambula kuno kugwa mu nteekateeka y’Olukiiko lwa Buganda, ababaka ku bukiiko obw’enjawulo mwe Bali mu kulambulira emirimu egikolebwa mu Minisitule za Gavumenti ya Kabaka ez’enjawulo.