Akakiiko k’Ebyenjigiriza, nga kakulembeddwamu Ssentebe wako Omumyuka Asooka owa Ssekiboobo Oweek. Moses Ssenyonjo Kiyimba, kalambudde amasomero g’Obwakabaka olwaleero; Bbowa Vocational Secondary School erisangibwa e Kalule mu Bulemeezi, I Read we Lead for Change Early Childhood Development Center e Kazo n’ettendekero lya Buganda Royal Institute e Mmengo.
Akakiiko kalambuzuddwa emirimu egikolebwa mu massomero gonna nga bweri enkola y’Olukiiko lwa Buganda erondoola ebikolebwa mu buli kkatala okunyikiza ensonga ssemasonga ettaano.
Olukiiko lwegatiddwako Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu era avunanyizibwa ku woofiisi ya Maama Nnaabagereka, Oweek. Cotilda Nakate Kikomeko nga asinzidde wano okuzzamu amaanyi mu bantu ba Beene nga Nnyinimu bweyasiimye okwongera amasomero agatandikirwako “Nursery” ekijja okuyambako okuzimba abaana nga bagumidde.
Oweek. Nakate alaze nga bwewaliwo obwetaavu okulambika abaana mu byokusoma naddala mu matendekero aga waggulu.
Oweek. Moses Ssenyonjo ategezeezza nga amasomero gano bwegayanguyiza abantu abagayiseemu okutandikawo emirimu nebagaggawala amangu.