• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka bukungubagidde Ssaabasumba Yonah Lwanga

Gambuuze by Gambuuze
September 6, 2021
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka bukungubagidde Ssaabasumba Yonah Lwanga
0
SHARES
122
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Ssaabasumba w’Abasodokisi mu ggwanga, Yonah Lwanga eyafiiridde mu ggwanga lya Buyonaani (Greece) ku Ssande.

Katikkiro Mayiga bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Mmande mu Bulange Mmengo, ategeezezza nti ono abadde ddoboozi ly’abo abanyigirizibwa era ayagala ennyo Kabaka we n’ensi ye Buganda.

“Ssaabasumba Lwanga abadde omukulembeze w’eddiini asoosowaza obulungi bw’abantu. Abadde alwanirira eddembe ly’obuntu, enfuga entambulira ku mateeka, enkulaakulana n’okutabagana.” Owek. Mayiga bw’agambye.

Owek. Mayiga agasseeko nga Ssaabasumba Lwanga bw’abadde musajja eyeeyagalira mu nnono n’obuwangwa bwa Buganda kyokka ate nga yeeyagalira bulungi mu nsi Uganda.

Mu ngeri yeemu bannabyabufuzi batenderezza abadde Ssaabasumba w’Eklesia y’Abasodokisi mu Uganda, Yonah Lwanga ng’omusajja abadde omumalirivu era eddoboozi ly’abo abanyigirizibwa era ne basaba bannayuganda okumulabirako.

Lwanga yafudde ku Ssande ku myaka 76 wabula ng’ebisingawo ku kyavuddeko okufa kwe tekinnategeerekeka.

Ayavuganyaako ku bwapulezidenti, Dr. Kizza Besigye amwogeddeko ng’omusajja ateerya ntama era abadde omukulembeze omulungi akadde konna.

Okusinziira ku Besigye, Lwanga abadde mumalirivu, eyekkiririzaamu era abadde akola ennyo okulaba nga Uganda ekulaakulana era bw’atyo n’ategeeza nti Uganda efiiriddwa nnyo.

Ate Nnampala wa gavumenti, Thomas Tayebwa amwogeddeko ng’omusajja ow’amazima awaddeyo amaanyi ge gonna okuweereza abantu ba Katonda.

Omuloodi Erias Lukwago amwogeddeko ng’omusajja awaniridde obwenkanya akadde ke konna.

Lwanga yazaalibwa mu 1945 ng’enzikiriza y’Abasodokisi yaakamala okutongozebwa mu Uganda wadde nga yali ebaddewo okuva mu 1900.

Share this:

Tags: Dr. Kizza BesigyeErias LukwagoYonah Lwanga
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist