• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga atadde gavumenti ku nninga ku ttemu e Masaka

Gambuuze by Gambuuze
August 31, 2021
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga atadde gavumenti ku nninga ku ttemu e Masaka
0
SHARES
77
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga atadde gavumenti ku nninga enoonyereze ku batemu abalaalika abantu ne babatemula nga abeebyokwerinda tebalina kyamaanyi kye bakozeewo.

Okwogera bino, Katikkiro abadde atikkula Oluwalo okuva mu Bannabugerere ku mbuga enkulu Bulange e Mengo ku Lwokubiri, n’avumirira ettemu eriri mu bitundu by’e Buddu.

“Abeebyokwerinda balemwa batya okukola obukessi ne balemwa okukwata abatemu bano nga tebannatema bantu. Ekisinga obukulu abo be bakutte bababuulire oyo abasindika okutta abakadde n’abanaku era bababuuze kiki ekigendererwa.” Owek. Mayiga bw’agambye.

Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti singa gavumenti temanya bali mabega wa butemu buno, kigenda kuleetawo eng’ambo ez’obulabe era eziyinza okutabangula eggwanga.

Owek. Mayiga agamba nti mu mbeera y’okugezaako okugumbulula bannabyabufuzi, ab’ebyokwerinda baggyayo n’amaanyi gonna okugezaako okubalemesa, bwatyo n’asaba amaanyi ge gamu ge gabeera gasindikibwa e Masaka.

Katikkiro akubirizza abantu okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka ng’Emmwanyi Terimba n’endala nga bwe balinda Federo, olwo Buganda ejja kusobola okutuuka ku ntikko era nabo ng’abantu basobole okukulaakulana.

Katikkiro Mayiga abasabye basigale ku bwerinde olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona ekitadde eggwanga ku bunkenke era beewale emikolo awamu n’okwefuutiika era bafube okwegemesa.

Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki ayanjulidde Kamalabyonna enteekateeka ze balina omuli okupunta ettaka lya Buganda okusobola okulitaasa ku baagala okulibba era n’akubiriza abantu okwekuuma Ssennyiga corona.

Ono Bannabugerere abasabye okubeera obumu baleme kukkiriza byabufuzi ku baawula era bwe baba balonda balonde abo abawa Ssaabasajja Kabaka ekitiibwa kisobozese okutwala Buganda mu maaso.

Mugerere aloopedde Katikkiro ku buzibu bwe balina e Bugerere kuba abamu ku bamagombolola bava mu bulamu bw’ensi ate abalala emirimu ne bagirekawo ekireeseewo emirimu obutatambula bulungi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist