Bya Ssemakula John
Kampala
Eyaliko Ssaabawolereza wa gavumenti era nga yaliko n’omulamuzi wa kkooti ensukkulumu, Prof. George Wilson Kanyeihamba ategeezezza nga Pulezidenti Museveni bw’atayagalangako nkola ya ttaka lya mayiro, wabula n’amuwa amagezi alyesonyiwe kuba lijja kusuula eggwanga mu mitawaana.
“Nali mu NRM Movement etaali kibiina kya byabufuzi naye abantu bonna baali bamanyi nti Museveni yali awagira enkola eyaawamu eya’ Communisim’ era ng’ayagala ettaka lyonna libeere lya gavumenti, naye ffe twakigaana mu CA era ne tugamba ettaka libeere lya bantu so si gavumenti,” Kanyeihamba bwe yagambye.
Omulamuzi Kanyeihamba agamba nti abatali baganda bangi batudde ku ttaka lya Buganda awatali kugobaganyizibwa muntu yenna.
“Wano we ndi ttaka lya mayiro era ttaka lya Ssaabasajja, muliraanwa wange ye muko wa Museveni, Odrek Rwabogo asulawo ne mukyala we Patience era ffenna tuli ku mayiro. Era tuli bamirembe era tuli ku ttaka lya mukama waffe Kabaka.” Omulamuzi Kanyeihamba bwe yategeezezza.
Ono yannyonnyodde nga mu bbanga ly’amaze ku nsi talabanga ggwanga lya mukwano era lisembeza bantu balala nga Buganda kuba omu ku balirwana b’alina ye Omukama wa Tooro naye atudde entende ku ttaka lya Buganda.
Ku nkola ya mayiro okuzing’amya enkulaakulana, Omulamuzi Kanyeihamba agamba nti kino si kituufu kuba n’ettaka gavumenti ly’etutte nga yeefuula eyagala okulikulaakulanya, ate litwaliddwa bagagga n’emikwano gy’omukulembeze.
“Naye katugende ku ttaka gavumenti ly’erina tulabe ekikoleddwawo. Baagenda mu Kampala okumpi ne Palamenti ne baggyawo essomero lya Shimoni Demonstration School naye kati ani aliwo? abantu baabulijjo bayinza okugendawo? Naye kati abasajja abagagga be balirina. Twalina obuyumba bwa poliisi e Nsambya, gavumenti n’erifuna n’eritwala naye kati baateekawo Ssemaduuka omunene ne wooteeri.” Omulamuzi Kanyeihamba bwe yagasseeko.
Omulamuzi Kanyeihamba yakakasizza nti ekituukawo ku ttaka gavumenti ly’ezze etwala kwe kuwa ettaka eri mikwano gya NRM, egya Pulezidenti era bano be baweebwa omukisa okukulaakulanya ettaka lino era olumala abantu baabulijjo tebakkirizibwa wadde okusala mu bifo bino.
Kanyeihamba yasabye Pulezidenti Museveni akimanye nti bamuwabisa era mu ngeri eno yeesonyiwe ettaka lino, ensi esobole okusigala awamu era ekulaakulane.
“Tewaliwo nsonga mbi yonna ku ttaka lya mayiro. Ate abantu abajagala si baganda bokka kubanga ekola, era Museveni alina okumanya nti abantu abangi abalina ettaka lya mayiro ate si baganda.” Omulamuzi Kanyeihamba bwe yalambuludde.