
Bya Ssemakula John
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asisinkanye abakungu okuva mu kibiina ekitwala omupiira mu nsi yonna ekya FIFA ne Fufa, okumulaga enteekateeka y’okuzimba ekisaawe ku ttaka Buganda lye yawaayo e Lugazi, w’etuuse.
Abakungu bano abaabadde bakulembeddwa Abigail Lemma ne Pulezidenti wa FUFA, Eng. Moses Magog, beebazizza Obwakabaka olw’okuwaayo ettaka lino okunaateekebwa ekisaawe ekituuza abantu abawera emitwalo 2.
Katikkiro agamba nti engeri aba FIFA gye baasiimye ekifo ekyaweebwayo, FUFA erina okulaba nti tezannyisa mukisa guno.
“Bwe tufuna omukisa okukolagana ne FUFA era ne FIFA ne tuzimba ekisaawe e Lugazi, kijja kuyamba nnyo omupiira mu Uganda.” Owek. Mayiga bwe yagasseeko.
Owek. Mayiga yasinzidde wano n’alabula abavubuka abafunye omukisa okuzuula ebitone byabwe naddala abasamba omupiira, omukisa guno okugukozesa obulungi nga batereka ssente ate n’okwewala emize.
Mu nsisinkano eno, Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yategeezeza nti Buganda erina entegeka okuzimba ebisaawe mu buli ssaza era nga basuubira nti enkolagana eno yaakuyambako okutuukiriza ekiruubirirwa kino.
Kinajjukirwa nti mu 2018, Obwakabaka bwawaayo yiika 10 e Lugazi okuzimbako ekisaawe ekigenda okutuuza abantu emitwalo ebiri ng’ensimbi ezigenda okukizimba zigenda kuva mu kibiina ekiddukanya omuzannyo gw’omupiira mu nsi yonna ekya FIFA.
Pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo yagambye nti ekireese abakulu ba FIFA kwe kulambula emirimu egikolebwa FUFA nga mw’otadde n’ettaka ly’e Lugazi, Buganda lye yawaayo okuzimbako ekisaawe.
Akulira eby’emirimu mu FUFA, Edgar Watson yannyonnyodde nti ekifo kino kirambulwa buli kadde era ngenteekateeka ezisooka zitambula bulungi, wadde nga bakyalina okusoomoozebwa kw’ensimbi kuba be balina okukuba pulaani y’ekisaawe.
|
|









