Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye gavumenti eteekewo amateeka agasobola okukuuma ebintu by’enkizo ebikwata ku nnono za Buganda n’amawanga amalala mu Uganda, bireme okusaanawo.
Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mu kuggulawo omusomo gw’okumanyisa abavubuka obuvunaanyizibwa bwabwe mu kukuuma n’okutaasa amasiro g’e Kasubi, ogubadde mu nkola ya ZOOM nga gutegekeddwa Minisitule y’Obuwangwa n’ennono mu Bwakabaka.
“Nsaba gavumenti ya Uganda, okutwala Amasiro g’e Kasubi ng’ekifo eky’enkizo era ekikulu ennyo. Era twagala gavumenti eyise amateeka agagendereddwamu okukuuma ebifo byaffe ebyenkizo ebikwata ku nnono yaffe. Amasiro g’e Kasubi geetaaga okukuumibwa essaawa 24 kubanga waliwo abantu ab’emyoyo emibi abayinza okugatuusaako obulabe.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti Amasiro g’e Kasubi makulu nnyo wadde n’amalala galina okulowoozesebwako naye buvunaanyizibwa bwa buli muvubuka okulaba nti gakuumibwa butiribiri.
Ono asabye abavubuka okumanya obuzito bw’ebifo by’obuwangwa ng’Amasiro, okusobola okubeera empagi mu kugakuuma gasobole okulabwako n’emirembe egirijja ng’akabonero k’obuwangwa n’obugunjufu bwa Buganda.
“Ennyumba Ssekabaka Muteesa I we yasisinkaniranga abagenyi ab’enkizo, ge gaafuuka Amasiro ge g’akisizza omukono mu 1884. Era ge masiro agaasooka okubeera wabweru w’essaza lya Busiro. Kasubi masiro nga nkizo kuba gagalamiddemu bassekabaka ba Buganda bana balamba.” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga ategeezezza nti Amasiro g’e Kasubi ke kabonero akalaga eby’obusika bwaffe, obugunjufu bw’abajjajja ffe, obuyiiya awamu n’obutetenkanya.
Ono yeebazizza abantu ba Buganda abaawaayo bye balina awamu ne gavumenti ya Japan, Uganda n’ekibiina kya UNESCO olw’obuyambi obw’enjawulo.
Katikkiro Mayiga agamba nti kikulu nnyo abavubuka okutegeera obukulu bw’Amasiro era nga basaanye okumanya amakulu amakusike agali mu Masiro g’e Kasubi era n’abasaba okumanya ensonga, basobole okufuna omutima ogugakuuma.
“Abavubuka mbakowoola okuwandiika bye mubeera muyize mu lulimi Oluganda era twagala musaasaanye obukulu bw’okukuuma.” Owek. Mayiga bw’agasseeko.
Minisita w’ebyobuwangwa, olulimi n’ebyokwerinda mu Buganda, Owek. David Kyewalabye Male ategeezezza nga bwe bakola buli kimu okumaliriza Amasiro gano mu kifaananyi kyago kyennyini nga bakuuma ennono n’obulombolombo bwonna obulina okugobererwa.
Omusomo guno gwetabiddwamu abantu abasobye mu 200 omubadde abakungu okuva mu kitongole ky’ensi yonna ekya UNESCO, baminisita b’Obwakabaka awamu n’abakungu abalala.