
Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alonze abadde Minisita w’empisa wamu n’obuntubulamu, Fr. Simon Lukodo ne munnakibiina kya Democratic Party Shifra Lukwago, okubeera bakamisona b’akakiiko k’eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission mu ggwanga.
Kinajjukirwa nti Fr. Lukodo yali yasuulibwa ku bwaminisita mu kyukakyuka Pulezidenti Museveni ze yakola ng’alonda abantu b’agenda okuweereza nabo mu kisanja kino ekipya.
Abalala abalondeddwa ku bwakamisoma ye yali omukwanaganya w’ekitongole ekirafuubanira enfuga ya demokulaasiya ekya ‘Citizens’ Coalition for Electoral Democracy in Uganda (CCEDU), Crispin Kaheru, eyaliko kkansala wa KCCA, Shifra Lukwago ne Jackie Atuheire.
Mu ngeri yeemu Mariam Wangadya, y’alondeddwa nga ssentebe w’akakiiko kano omuggya, era amannya ga bano bonna gasindikiddwa mu Palamenti basobole okusunsulwamu ku Lwokusatu, akakiiko ka Palamenti akakola ku kwekenneenya abantu ababeera balondeddwa omukulembeze w’eggwanga.
“Akakiiko ka ‘Appointments Committee’ kagenda kusisinkana abantu abalondeddwa Pulezidenti ku Lwokusatu nga 25, August 2021 mu kisenge kya Conference Hall,” ekiwandiiko ekyafulumiziddwa kkiraaka wa Palamenti, Adolf Mwesigwa bwe kitegeezezza.
Akakiiko kano aka Uganda Human Rights Commission kaateekebwawo Ssemateeka wa 1995 okusobola okugoberera n’okunnyikiza eddembe ly’obuntu mu ggwanga. Era ebimu ku bifo bya bakamisona birudde nga bikalu era okulondebwa kwa Lokodo n’abalala kijjidde mu kiseera kituufu.









