Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo, Janet Kataha Museveni alabudde abasomesa abatandise okulowooza ku by’obutegemesa ekirwadde kya COVID-19, bakimanye nti emirimu gisobola okubafa amasomero bwe ganaaba gagguddewo.
“Njagala mumanye nti tugenda kulagira abakulira amasomero n’amatendekero okubeera abakambwe ennyo ku musomesa yenna atali mugeme era tajja kukkirizibwa kuyingira mu kibiina, temulowooza nti twogera bwogezi.” Museveni bw’agambye.
Museveni annyonnyodde nti nga Minisitule, kino bakikola kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe era bajja kukakasa nti abasomesa bonna n’abayizi abali waggulu w’emyaka 18 bagemeddwa.
“Kikulu nnyo mwegemese. Bw’onooba togemeddwa tojja kukkirizibwa kugenda mu ssomero kukola mulimu guno gw’oyagala ennyo.” Minisita Janet Museveni bw’agasseeko.
Ono annyonnyodde nti batudde ne Minisitule y’ebyobulamu nebakkiriziganya abasomesa babagemere ku masomero.
“Minisitule yakkiriza abasomesa bagemebwe bokka era bagemerwe ku masomero. Kino kikoleddwa okusobola okutuuka ku basomesa bonna era okugemebwa kugenda kutandika mu bwangu.” Janet Museveni bw’akkaatirizza.
Kinajjukirwa nti amasomero gonna gaggalwa mu Gwokutaano olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona okweyongera.