• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Uncategorized

Nnamukadde ow’emyaka 87 atemuddwa mu ntiisa

Gambuuze by Gambuuze
August 23, 2021
in Uncategorized
0 0
0
Nnamukadde ow’emyaka 87 atemuddwa mu ntiisa
0
SHARES
100
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Betty Namawanda

Masaka

Entiisa ebuutikidde abantu b’oku kyalo Kikungwe mu ggombolola ya Kimaanya – Kabonera mu Buddu, musajjamukulu ow’emyaka 87  bw’asangiddwa ng’atemuddwa ng’omulambo gwe gugalamye mu kitaba ky’omusaayi.

Omugenzi ye Diriisa Mukasa ow’emyaka 87 era ng’abadde mutuuze ku kyalo kye kimu  wabula abatuuze bagamba nti ekikolwa kino kibakubye wala kuba omugenzi abadde talina ttabbu ku muntu yenna era tabadde na ssente kulowoozesa nti oba abamusse ze baabadde bajjiridde .

Ssentebe w’ekyalo Kikungwe, Abdul Lubega, agamba nti Omugenzi abadde ssezaala we era ng’emabegako batta mukyala w’omugenzi ssaako omwana waabwe bwe baabayiira Asidi.

Lubega ategeezezza nti awangaalira mu kutya ne mukyala we kuba naye mwana wa mugenzi era ng’alowooza nti essaawa yonna ayinza okulumbibwa, bw’atyo n’asaba poliisi enoonyereze mu bwangu abali emabega w’ettemu lino.

Ye muwala w’omugenzi Sarah Namukasa agambye nti jjo yayogedde ne kitaawe nga nebaawukana bulungi kyokka tamanyi kimusse kuba abadde talina mpalana ku kyalo na bantu.

Kkansala  w’ekitundu kino, Maria Nalikka alaze okutya kwe bafunye olw’obutemu obususse n’asaba poliisi okunoonyereza okuzuula abakola ebikolwa bino era bakwatibwe.

Poliisi okuva e Masaka ereese embwa ekonga lusu era egukkidde ku nju ya muganda w’omugenzi ategeerekeseeko erya Abdul n’ekoma awo era ng’ono abatuuze bamulumiriza okutta muganda we olw’ettaka lye babadde bakaayanira.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Masaka, Muhammad Nsubuga akakasizza ettemu lino era n’ategeeza nti poliisi yatandise dda okunoonyereza era mu bwangu abantu abakoze ettemu lino bagenda kukwatibwa bavunaanibwe mu mbuga z’amateeka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist