Bya Ssemakula John
Kampala
Munnakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), Proscovia Salaamu Musumba, aggyeeyo omusango gweyali yawaaba nga awakanya okulondebwa kw’ eyali Sipiika Rebecca Kadaga ku kubeera omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kamuli mu Palamenti.
Musumba yali yaddukira mu kkooti enkulu e Jinja nga alumirizza munnakibiina kya NRM, Rebecca Kadaga okumenya amateeka g’ebyokulonda wakati nga akalulu tekanatuuka neku lunaku lwennyini olw’okulonda.
Ono yagattako nti akulira eby’okulonda mu Kamuli awatali kugoberera mateeka yalangirira Kadaga mu bukyamu ekintu ekyali ekikyamu.
Kadaga nga kati ye mumyuka wa Ssaabaminisita ow’okusatu era nga ye Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’amawanga ga East Afirika, Musumba yali amulumiriza okutoola ku bululu bwe nabweyongera ekintu ekyamunyagako obuwanguzi bwe.
Wetukoledde eggulire lino ng’omusango gukyagenda mu maaso era nga guwulirwa omulamuzi Isa Sserunkuma era nga Musumba alabiddwako ku kkooti eno.