Bya Ssemakula John
Kampala
Munnamateeka w’omu ku bantu abaakwatibwa olw’obulumbaganyi ku Gen. Katumba Wamala, obwaleka nga muwala we ne ddereeva we battiddwa, ategeezezza kkooti nti ono talabikako era nga mu kkomera e Kitalya gye yasindikibwa taliiyo.
Huzaifa Wampa amanyiddwa nga Kanaabe yasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Kitalya nga July,15 oluvannyuma lw’okuvunaanibwa emisango okuli obutujju, obutemu wamu n’okugezaako okutemula abantu babiri era y’omu ku bantu 8 abasimbibwa mu kkooti era ne basindikibwa mu kkomera.
Ku Lwokuna nga 7, abamu ku bano baasimbiddwa mu maaso g’Omulamuzi nga bayita ku mutimbagano okuva e Luzira Upper Prison, ekyaleetedde munnamateeka Geofrey Turyasiima okutegeeza Omulamuzi nga Wampa bw’atalabikako.
“Oweekitiibwa Omulamuzi, omu ku bavunaanwa, Huzaifa Wampa tali mu kkooti era tusaba olagire aleetebwe.” Turyamusiima bwe yategeezezza kkooti.
Wano, Omuwaabi wa gavumenti, Barbra Kyomugisha yasabiddwa okwewozaako ku nsonga eno, era ono yasabyeyo akadde asobole okubuuza ab’amakomera ekyatuuseewo.
Omulamuzi ali mu musango guno, Ponsiano Odwori yagwongeddeyo okutuuka nga August,31, 2021 lwe gunaddamu okusomebwa naye n’alagira omuwaabi wa gavumenti okuddayo n’ekyokuddamu ku Wampa gy’ali era lwaki teyaleeteddwa.
Abakwate bonna 8 baasindikibwa ku alimanda omwezi oguwedde nga balangibwa okwetaba mu bulumbaganyi obwakolebwa ku Gen. Katumba Wamala.
Bano kuliko; Huzaifa Wampa aka Kanaabe, Sheikh Yusuf Siraji Nyanzi, Hussein Sserubula, Muhammad Kagugube aka Musiramu alias Mugisha aka Mbavumoja ne Kamada Walusimbi amanyiddwa nga Mudinka.
Abalala kuliko; Siriman Ayuub Kisambira aka Mukwasi Koja, Abdulaziz Ramathan Dunku ne Habib Ramanthan Marjan.
Bano bavunaanibwa emisango okuli; obutemu, obutujju, wamu n’okugezaako okutemula abantu.
Wabula omwogezi w’amakomera, Frank Baine, bw’abuuziddwa ku nsonga eno ategeezezezza nti wabaddewo okutabulwa n’okubuzibwabuzibwa ku nnaku entuufu Wampa z’alina okugenderako mu kkooti.
“Wampa yaweebwa ennaku za njawulo ez’okuddirako mu kkooti. Ensobi eno teyatereezebwa ate ffe abantu tubatwala mu kkooti nga babeetaaga.” Baine bw’annyonnyodde.
Baine agamba nti okusinziira ku bye balina, Wampa alina okudda mu kkooti nga 30 so si leero nga banne bwe bavunaanibwa.