Bya Francis Ndugwa
Kampala
Minisita wa Buganda ow’emirimu egy’enkizo, Owek. Daudi Mpanga, ategeezezza nti obuzibu obunene ku ttaka lya mayiro buva ku bakulembeze kukozesa maanyi okugonjoola obuzibu ku ttaka lino nga tebasoose kwebuuza n’okuwuliriza ebyo ebikwata ku ttaka lino.
Okulambika kuno Owek. Mpanga akukoledde mu musomo gw’ebyettaka ogwateekeddwa aba Buganda Youth Council nga gwakubiriziddwa Dr. Sam Kazibwe nga gwayindidde butereevu ku mutimbagano gwa ZOOM ne leediyo ya CBS ku Lwokusatu.
“Obuzibu bwa mayiro buzze lwakuba buli ayagala okulongoosa akwasa maanyi, tatuuza bantu wansi, tawuliriza ate n’abasala ensonga zino balina kyekubiira. Omuzungu bwe yali asala yali akutte 9000 nga takata. Abantu abaasobezebwako mu 1900 n’abo abaafunamu bakyuse era tewali bukakafu nti be balina ettaka mu budde buno.” Owek. Mpanga bw’annyonnyodde.
Ono agasseeko nti obuzibu tebuva ku linnya oba ekigambo mayiro naye enkola erina okugoberererwa eyeetaaga amagezi obukkakkamu n’obwenkanya kuba ettaka lino liriko abasenze n’abeesenza bokka ku ttaka lino, nga bonna okubasasula,kibeera kizibu.
Owek. Mpanga agamba nti okuva edda omutuuze eyasezebwanga era ekigambo obusuulu n’evujjo byabuwangwa wadde bifaananamu ebyali mu mawanga amalala, naye enkola ya Buganda teyali yakukuumira bantu mu Buddu era abasenze mwe mwavanga abaami abaafugirangako Nnyinimu Obuganda.
Mpanga agamba nti omuntu yasikiranga mayiro, yagulanga mayiro ng’akimanyi nti eriko abatuuze abaabeerangako era abaalyanga Obwami nga bavuganya ku ani asinga okukulembera obulungi abantu baabwe.
Owek. Mpanga ategeezezza nti kikulu bannayuganda okutegeera ensonga ezikwata ku ttaka nga bamanya we tuli, gye tuva ne we tulaga n’engeri abantu gye basobola okumanya eddembe lyabwe ku nsonga z’ettaka.
“Ettaka lino lye twagala okulekera abazzukulu baffe, tusobola tutya okubeerawo ffenna awamu ne tutambuza ensonga eno nga tugiggyeemu omuliro, okwesittala, ng’etegeerebwa bulungi era ng’ekwatibwa bulungi kati n’emirembe egijja.” Owek. Mpanga bwe yagambye.
Munnamateeka Mpanga ategeezezza nti endagaano ya 1900 we yakolebwa nga kisuubirwa nti Uganda erimu ssikweya mayiro 17,000 era wano kyasalibwawo 8000 kasigale mu bajjajjaffe abaganda ate 9000 kadde mu mikono gy’abazungu era wano we wajja enkola ya mayiro wadde era 8000 baayongera okukayawulamu.
Owek. Mpanga agamba nti okuva olwo mayiro zino 8000 zaatandika okugulibwa awamu n’okutundibwa wabula abazungu bwe baali basiibula okuva wano, mayiro 9000 ne kafuuka erya ‘Freehold’ wabula enkola zino zombi zaasangawo abaganda abaali ab’ebibanja nga batudde ntende ku ttaka lino.
Minisita Mpanga ategeezezza nti ettaka lya Buganda, obwannannyini bwalyo bwava dda era ng’Abangereza bagenda okujja wano ng’ettaka weeriri era ng’enkozesa yaalyo yali erung’amizibwa abataka ab’enjawulo ku lwa Ssaabataka era Ssaabasajja Kabaka.
Ono alabudde nti okuzzaawo ettaka lya mayiro, kivvoola ssemateeka aw’abantu; eddembe okubeerako n’obwannannyini ku bintu omuli n’ettaka era munnansi alina eddembe okugenda mu kkooti singa aliyirirwa kyokka n’abeera nga simumativu.
“Mayiro bw’ojja n’ogamba nti olwokuba ebitabo bye wasoma n’engeri gy’owulira olwaleero ogiggyeewo, ogiweze n’ebyapa obigambye ate abadde nannyini byo togenda kumuliyirira, oba omenye Ssemateeka.” Owek. Mpanga bw’alabudde.
Ye minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuzaamu, Owek. Henry Ssekabembe, asabye abavubuka okwettanira okukozesa tekinologiya kyokka era bakyuse endowooza zaabwe ku nsonga za Buganda era babeere abasaale mu kuzirwanirira.
Ate ye Ssenkulu wa Buganda Land Board, Simon Kaboggoza, ategeezezza nti ettaka kkulu nnyo mu Buganda era obumu ku buvunaanyizibwa bwabwe nga BLB kwe kusomesa ebikwata ku ttaka nga buli mulimu ogukolebwa gwekuusa ku ttaka era nga n’omuntu bw’abeera afudde adda mu ttaka. N’asaba abantu ba Beene okunoonya okumanya ku nsonga z’ettaka.
“Ku mulundi guno twagala abantu bafune okumanyisa ku nsonga z’ettaka. Kitukola bulungi buli muntu bwe yeetegeerera ensonga z’ettaka ne balema kubuzaabuzibwa.” Omuk. Kaboggoza bwe yannyonnyodde.
Olukung’aana luno lwetabiddwamu Ssentebe w’abavubuka mu Buganda, Owek. Ssejjengo Baker wamu n’abakulembeze b’abavubuka, bannabyabufuzi n’abantu abalala bangi.