Bya Stephen kulubasi
Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peters Mayiga, azzeemu okutabukira gavumenti erowooza nti ebizibu eggwanga lye birimu eby’ettaka, biva ku ttaka lya Mayiro.
Katikkiro Mayiga okwogera bino, yasinzidde mu Bulange mu bubaka bwe obw’enjawulo bwe yawadde bwe yabadde awayaamu ne bannamawulire ku Lwokubiri.
“Okutabiikiriza ebyobufuzi mu nsonga z’ettaka, kye kivaako emivuyo gy’ettaka. Kkooti nnafu naye oluusi ziwa ebiragiro ku ttaka, babeera bagenda okubissa mu nkola, ogenda okuwulira nti Rdc abisazizzaamu. Ekyo byabufuzi. Bw’oba oyagala okugonjoola ebizibu by’ettaka, ggyamu ebyobufuzi.” Owek Mayiga bwe yagambye.
Okukakasa kino, yanokoddeyo ebitundu omuli Lango, Karamoja, ne Teso, gye yagambye nti n’abaayo batudde ku nkato lwa mivuyo gya ttaka.
Katikkiro Mayiga yannyonnyodde nti okuvumirira ettaka lya Mayiro kigendereddwamu kunafuya Buganda.
“Abali emabega wa kaweefube w’okulwanyisa ettaka lya Mayiro baagala kunafuya Buganda. Bw’oggyawo ettaka, Buganda oba oginafuyizza. Ate abo bonna abakiri emabega nabo balina ettaka lya mayiro.” Bwe yagasseeko.
Wabula Kamalabyonna yagumizza abantu ba Buganda, nti amateeka amakyamu ne bwe ganaayisibwa, ekiseera kijja kutuuka gatereezebwe nga bwe kyali ku mulembe gwa Amin.
Bino we bijjidde, nga Ssaabasajja Kabaka ayita mu bubaka bwe obwa Eid Adhuha, yaakamala okulagira abasiraamu okusabira Buganda, Mukama agitaase ku bantu abaagala okugitwalako ebintu byayo ng’ettaka awamu n’okugikyayisa abantu b’ebitundu ebirala.
Katikkiro Mayiga era yasinzidde wano ne yeebaza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka, olw’okukulembera obulungi Buganda emyaka gino 28 egigenda okujaguzibwa bukya alinnya ku Nnamulondo.
Okunyweza kino, Kamalabyonna yanokoddeyo ebituukiddwako mu myaka 28 Kabaka gye yaakalamulira Obuganda omuli okukulaakulanya ebyobulamu, ebyenjigiriza, okununula ettaka, okuzzaawo obumu mu Buganda, n’ebirala bingi.