Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asabye abasiraamu okusabira Obwakabaka bwa Buganda, Mukama Katonda abutaase ku bantu abaagala okukyayisa Buganda wamu n’okugitwalako ettaka lyaayo.
“Tusaba okusaddaaka kw’omwaka guno mukukole n’ekigendererwa ky’okwegayirira Allah ayongere okututaasa, okutusaasira n’okuziba amakubo n’amaloboozi agagenderera okukyusa ebyo bye tulinako obwannannyini n’okusingira ddala obwannannyini ku ttaka n’ekigendererwa eky’okunyigiriza n’okukyayisa Buganda mu ngeri ez’enjawulo.” Omutanda bw’alagidde abayisiraamu.
Kabaka era abasabye okusabira olukiiko lwa Palamenti olupya lusobole okuteesa ku nsonga ezikwata ku ggwanga lyonna si ebyo ebiganyula abantu n’ebitundu ebimu, eddiini oba ekibiina ky’ebyobufuzi ekimu.
Beene agamba nti singa kino kinaakolebwa, gwe musingi ogugenda okukulaakulanya Uganda n’abantu baayo.
Maasomoogi era akunze abasiraamu basabe wabeewo obwenkanya n’okwongera okwanguya okunoonyereza ku misango egivunaanibwa bannayuganda abateeberezebwa okumenya amateeka.
Kino kijja kuyamba kkooti okusalawo amangu okubonereza abalina emisango n’okuyimbula abo abatalina misango.
Omutanda asabye kkooti zeetengerere nga zisalawo ku nsonga zino era zisalawe nga zeesigamye ku bujulizi awamu n’amateeka.
Ssaabasajja Kabaka era ayagalizza abayisiraamu Eid Adhuha ey’omwaka guno ennungi era n’asaasira abantu abakoseddwa ennyo ekirwadde kya Ssennyiga Corona.