Bya Fatuma Nakiwala
Omu ku basomesa b’ Omulangira Ronald Muwenda Mutebi bweyali asomera ku ssomero lya Kabuubwa Primary School erisangibwa mu disitulikiti ye Kakumiro ayitibwa Muzeeyi Asanansio Ssenjovu afudde!
Ssenjovu abadde amaze ekiseera nga atawaanyizibwa obulwadde bwokuzimba amagulu era afiiridde mu ddwaliro ekkulu erye Mubende mu kiro ekiseezza olwa leero. Ono yazaalibwa nga 3/June/ 1929 era afiiridde ku myaka 92.
Muzeeyi Asanansio Ssenjovu y’omu ku bafuna omukisa nebasomesa ku Mulangira kati eyafuuka Kabaka bweyali asoma mu Pulayimale.
Asanansio Ssenjovu abadde atuula ku mutala Kyakasengula mu ggombolola ye Nalutuntu mu disitulikiti ye Kassanda.
Okusinziira ku mutabani we gwabadde abeera naye Esofeeri Ssebuufu muzeeyi Ssenjovu abasadde nnyo olwekirabo katonda kyeyamuwa ekyobuteerabira kuba ebyo byonna ebyaliwo abadde akyabijjukira.
Gutusinze nnyo Ssaabasajja!