Bya Ssemakula John
Kampala
Abeebyokwerinda bategeezezza nga bwe bafunye ku buweerero oluvannyuma lw’okukizuula nti omu ku bantu abaakwatiddwa mu kugezaako okutemula Gen. Katumba Wamala yeenyigira mu lukwe lw’okutta Afande Andrew Felix Kaweesi ne Maj. Muhammad Kiggundu.
Mu Novemba wa 2016, abatujju ab’emmundu abaali batambulira ku Ppikipiki, baalumba Maj. Muhammad Kiggundu n’omukuumi we Sgt. Stephen Mukasa e Masanafu, ate omwaka ogwaddako mu March 2017, eyali omwogezi wa poliisi AIGP Andrew Felix Kaweesi awamu n’omukuumi we ne ddereeva we battibwa mu ngeri yeemu e Kisaasi.
Ate ku ntandikwa ya June, 2021 abasajja bana abaali batambulira ku Ppikipiki 2 baalumbye Minisita w’ebyenguudo, Gen. Katumba Wamala ne bakuba emmotoka mwe yali atambulira amasasi agaaleka nga gasse muwala we awamu ne ddereeva we, ate ye n’omukuumi we ne bagendera ku bisago ebyamaanyi.
Leero ku Lwokubiri, amyuka Ssaabaddumizi wa poliisi, Maj Gen Paul Lokech, alangiridde nga bwe baakutte Huzaifa Wampa amanyiddwa nga Kanaabe okuva e Luweero gy’abadde yeekwese.
Ono ye mutemu owookubiri alabikira mu butambi obwakwatibwa nga bagezaako okutemula Katumba Wamala.
“Bwe yabadde akunyizibwa, yakkirizza okwenyigira mu butemu n’obubbi bw’emmundu obwenjawulo mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo era mu mugatte batemudde abantu 14, okugezaako okutta abantu basatu wamu n’obubbi bw’ emmundu bwa mirundi esatu.” Lokech bw’ategeezezza.
Okusinziira ku Lokech Kanaabe yakkirizza okwenyigira mu bubbi obwakolebwa ku kkampuni ya Denovo Bread Company mu 2017 bwe baali bakung’aanya ssente eziwerako okuva ku matundiro gaabwe ag’enjawulo.
Mu bulumbaganyi buno abapoliisi babiri baabufiiramu era obukadde 37 ne bubbibwa.
Poliisi era ekakasizza nga Kanaabe bw’akkiriza okwenyigira mu bubbi obwali ku Cheap Hardware e Nansana mu 2019 obwaleka ng’abantu babiri battiddwa era obukadde 300 ne butwalibwa awamu n’obubbi ku City Supermarket esangibwa e Mpereerwe gye babba obukadde 2 n’emitwalo 20 awamu n’obukadde 4 n’ekitundu ezabbibwa ku agenti wa Mobile Money aliraanyeewo.
Wabula ensonda ezigoberera okunoonyereza kuno, Kanaabe agamba tebeenyigira mu kutta kw’omubaka Ibrahim Abiriga ne Joan Kagezi abattibwa mu ngeri yeemu.
Ku ky’abateeberezebwa abattibwa nga bakwatibwa, Gen. Lokech ategeezezza nti bannayuganda balina okukimanya nti akabinja ka bano kamutawaana era tebasobola kukazannyisa era abamu ku bano baagezaako okulwanyisa abapoliisi baabwe nga bagenze okubakwata.