Bya Stephen Kulubasi
Kampala
Ssaabaminisita Robinah Nabbanja atongozza kaweefube wa gavumenti ow’okugaba sente eri bannansi abaakosebwa omuggalo, era n’agamba nti we bunaazibira ng’abasinga ssente zino nga zibali mu ngalo.
” Enteekateeka y’okuweereza ssente eri abantu abali mu bwetaavu ngitongozza era nkakasizza nti zijja kutuuka kubanga baziweereza ku ssimu ne nkirabako nti omuntu azifuna bulungi.Tutandise n’ebitundu ebyasobodde okukozesa obwangu mu kuwandiisa abantu kubanga tetusobola kubalinza mbu balinda abo abaakozesa akasoobo.” Ssaabaminisita Nabbanja bw’ategeezezza bannamawulire ku Lwokuna mu Kampala.
Okusinziira ku Ssaabaminisita Nabbanja, olwaleero abantu 50 ku 100 ku abo abasunsuddwa bagenda kusula nga ssente bazifunye era bajja kwongerako okusingala ku bwangu abasunsula bwe bagenda okukozesa.
Nabbanja ategeezezza nti enkola ya ssente baagipimapiima n’eyokugaba emmere ne kikakasibwa nti okugaba ssente kye kisinga era n’asaba abantu babeere bagumu kubanga tewali muntu ali mu bwetaavu gwe bagenda kuleka bbali.
Mu kutongoza kaweefube ono, kirambikiddwa nti nti tewali muntu asobola kusubwa mukisa gwa ssente ng’agwa mu kiti ky’abo abateekeddwa okuzifuna kubanga emiwaatwa gyonna egiyinza okukozesebwa abaagala okuzibba mizibe.
Ono asiimye gavumenti n’akakiiko akaateekebwawo okulwanyisa nnawookera w’ekirwadde kya Corona era n’asaba bannayuganda obutaddiriza mu kugoberera ebiragiro by’abasawo eby’ateekebwawo okulwanyisa obulwadde buno.
Mu kutongoza enteekateeka eno, Ssaabaminisita awerekeddwako abakungu ba gavumenti omuli; omumyuka we owookubiri, Gen. Moses Ali, Minisita w’ebyamawulire Chris Balyomunsi awamu n’abalala.