Bya Noah Kintu
Ssembabule – Mawogola

Aboobuyinza mu Ssembabule bakutte akulira okugema ekirwadde kya COVID-19 ku Ntuusi Healthy Centre IV nga kigambibwa nti ono abadde atunda kkaadi eziraga nti omuntu baamugema, ekintu ekitadde obulamu bw’abantu mu matigga.
Omukwate ye musawo Kalemba Emmanuel ow’emyaka 35 nga y’akulira enteekateeka z’okugema ku ddwaliro lya Ntuusi era nga yakwatiddwa ku biragiro by’omubaka wa Pulezidenti mu Ssembabule, Walugembe Ramathan.
Kigambibwa nti Kalemba kkaadi zino abadde ezitunda wakati w’emitwalo 8 ne 10 era kino abadde akikoledde akaseera. Mu kaseera kano ono akuumirwa mu kaduukulu ka poliisi y’e Ssembabule.
Oluvannyuma lw’okukunyizibwa RDC Walugembe, Kalembe omusango yagukkiriza era ne yeetondera RDC.
Kalembe annyonnyodde nga bwe yatuukirirwa omusajja Mwebaze Coleb n’amuwa kkaadi eno asobole okugenda e Kibaale okumwanjula kuba yali tasobola kutambula nga tagirina era oluvannyuma bakkiriziganya emitwalo 8 wadde yali tasoose kumusaba ssente.
“Kituufu naguza Mwebaze Coleb kkaadi eraga nti bamugema Covid-19 ate nga yali simugeme naye mu kusooka saasooka kumusaba ssente wabula oluvannyuma twatuuka ne tukkiriziganya era emitwalo munaana (80000).” Bw’atyo Kalemba Emmanuel bw’annyonnyodde mu maziga.
Okusinziira ku RDC Walugembe, baafuna okwemulugunya mu bantu nga waliwo abakola ebikolwa bino era naye kwe kusuula enkessi era bw’atyo n’akwata omusawo ono.
Walugembe agamba nti kino kya bulabe nti era y’ensonga lwaki eng’ambo zibungeesebwa nti abagemwa bafa Covid so ng’abakola ebikolwa ng’ebyo be b’onoonye enteekateeka zino, n’awera okulwanyisa ebikolwa bino e Ssembabule.
Ayongeddeko nti omusawo ono asobola n’okuwandiikira abantu kkaadi eziraga nti tebalina Siriimu ate ng’amuyina era ng’ebikolwa bino bigootaanya olutalo gavumenti lw’eriko olw’okulwanyisa ekirwadde kya Ssennyiga Corona, n’alabula bonna abakikola okukikomya.









