• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Obukulembeze obusosowaza abantu buleeta enkulaakulana – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
June 17, 2021
in Agafa e Mengo
0 0
0
0
SHARES
146
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, ategeezezza nti obukulembeze bukulu nnyo ku buli kibeera kiruubirirwa era singa buteeka essira ku kulembeza abantu busobola bulungi okuleetawo essanyu n’enkulaakulana mu bantu.

Bino Kamalabyonna abyogedde atuuza Pulezidenti wa Rotary Club y’e Wobulenzi, Muky. Florence Nassanga Musoke ng’ayita ku mutimbagano gwa ZOOM ku Lwokuna.

“Abantu yonna gye tubeera ne bwezibeera ensi bakula, bazing’ama oba badda emabega nga basinziira ku mutindo gw’obukulembeze bwe bafuna oba bwe bagoberera. Rotary ebaddewo emyaka mingi era etutuusizza ku bintu ebirungi bingi kubanga obukulembeze bwe balina bunoonya abo abasinga okuba n’obusobozi.” Owek. Mayiga bw’agambye.

Owek. Mayiga asiimye obukulembeze bwa bwa Rotary olw’okusosowaza abantu mu buli kye bakola naddala nga batandikira ku bintu ng’ebyobulamu, amazzi, okuzzaawo obutonde bw’ensi wamu n’okudduukirira abantu ab’enjawulo.

Kamalabyonna alabudde ku muze gw’abantu okwagala okutandikira ku binene n’asaba bayigire ku Rotary kuba ebintu ebitono bye bakola bibatuusa ku buwanguzi era nga ne lwe bavuddeyo okukola ebintu ebinene nabyo babiggusa.

Ono asiimye Pulezidenti omuggya, Nassanga Musoke, olw’okubeera omukozi eri eklezia, Obwakabaka n’eggwanga era omumalirivu buli lwabaako kyasazeewo okukola.

Mu kwogera kwe, Pulezidenti wa Rotary Club y’e Wobulenzi omuggya, Nassanga Musoke aweze okwogera okutwala ekibiina kino mu maaso era n’asiima Kamalabyonna olw’okukkiriza ne yeetaba ku mukolo guno.
Omukolo guno gwetabiddwako Bisoopu Paul Ssemwogerere wamu n’abakungu ab’enjawulo, era nga gukuziddwa mu ngeri ya Ssayansi olw’ekirwadde kya Corona ekiwanise amatanga

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist