Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi y’eggwanga ewakanyizza ebigambibwa nti Owek. Ffeffeka Sserubogo abadde ssentebe wa L.C5 owa disitulikiti y’ Kayunga, yasoose kuttibwa n’oluvannyuma n’ateekebwa ku muguwa kirabike ng’eyeetuze.
Kino kyaddiridde omulambo gwa Sserubogo okusangibwa nga gulengejjera ku muti ku Lwokusatu okuliraana amaka ge ekyaleese abamu okulowooza nti yabadde yeetuze.
Abamu ku booluganda n’abatuuze kino baakiwanyirizzaawo nga bagamba nti ono alabika yattiddwa n’oluvannyuma nawanikibwa ku muguwa.
Kino omwogezi w’ekitongole ekinoonyereza mu poliisi, Charles Twine, agamba bye baakazuulako biraga nti omugenzi yesse.
“Alipoota y’abasawo yakoleddwa abasawo abakugu mu kulongoosa basatu ne dokita omulala owa famire ya Ffeffeka Sserubogo mu maaso ga muganda we, Abubaker Kikuubo n’eraga nti omugenzi yeetuze.” Twine bw’ategeezezza.
Ono agamba nti okusinziira ku bakugu, ono yafunye embeera ya ‘Hapoxia’ omukka gw’obulamu ogwa Oxgyen negulemererwa okutuuka mu bitundu by’omubiri gwe.
Bino we bijjidde nga bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya bategeezezza nga Sserubogo bw’ayinza okuba nga yattiddwa olw’enkaayana z’ettaka mu kitundu kino wamu n’okulwanyisa enguzi by’abadde atandikiddeko.
Omuloodi wa Kampala , Erias Lukwago, eggulo yasabye poliisi enoonyereze bulungi ku nsonga eno okuzuula ekituufu ekyasse mugezi kuba enfa ye eriko ebibuuzo ebiwera.
“Enfa ye eriko ebibuuzo bingi naye tugenda kuwa abakugu obudde batubuulire ekyavuddeko okufa kwe.” Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti era omumyuka wa Pulezidenti wa NUP mu Buganda, Owek. Mathias Mpuuga, bwe yategeezezza.
Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu mwogezi waabwo, Owek. Noah Kiyimba, bw’asabye abantu okusigala nga bakkakkamu nga bwe balinda alipoota eva mu bakugu ku kituufu ekyasse omugenzi.