
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, afunye ddoozi esembayo ey’eddagala erigema Ssennyiga Corona.
Mukuumaddamula akayiso kano akookubiri akafunidde mu Bulange e Mmengo ku Mmande n’asaba abantu okukola kyonna okwekuuma.
“Eddagala erigema teririna bulabe era mugende babageme, abazungu bwe baba baagala okututta obutwa basobola okubuteeka mu ddagala lyonna lye tumira.” Mayiga bw’alung’amizza
Katikkiro agamba wakyaliwo bangi abatidde okugemebwa nga beekwasa nti abazungu baagala kumalawo baddugavu ekintu ekitali kituufu. Ono abasabye okwewala Pokopoko naye bagemebwe, kibayambe okutaasa obulamu.
Owek. Mayiga agamba nti abazungu beetaaga nnyo abaddugavu basobole okubaguza ebintu bye bakola bafunemu ssente kuba akatale mu Afirika tekannabooga.
Mukuumaddamula alabudde abeegumbulidde omuze gw’okwejjanjaba nga bakozesa eddagala ezzungu lye bawulidde ku mutimbagano ssaako eryekinnansi erirowoozebwa nti teriraba ku Covid-19.
Alabudde nti okwejjanjaba kwa bulabe singa eddagala limala gakozesebwa
Katikkiro awabudde nti ng’obunkenke n’ennyiike bisaanikidde emitima gy’abantu bangi, kikulu okwewala okubugutana n’okulaba abakugu abali okumpi.
Olwaleero n’abakungu ab’enjawulo mu Bwakabaka nabo bagemeddwa nga ku bano kuliko; eyaliko omumyuka wa Katikkiro owookubiri, owek. Amb Emmanuel Ssendawula, Minisita w’ebyobulamu Owek. Prosperous Nankindu, ssaako abakozi b’Obwakabaka awamu n’abalala.
Kinajjukirwa nti Minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga yayimiriza okugema abantu okwekikungo oluvannyuma lw’eddagala okuggwaawo era okugema kusuubirwa okuddamu singa eddagala eddala linaaba lituuse mu kiseera ekirowoozebwa nti si kye wala okuva kati.









