Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka
Aba Nkobazambogo mu ssentedekero wa Muteesa I Royal University, ettabi ekkulu ery’e Masaka, bakyusizza obukulembeze, bwe balonze ssaako n’okulayiza ssentebe omuggya wamu n’akakiiko k’akola nako.
Mu ngeri y’emu n’Omuyima wa Nkobazambogo omuggya mu ssentedekero ono, naye atuuziddwa .
Ku mukolo guno ogwetabyeko n’abayizi b’akalibaakendo okuva mu masomero aga ssiniya, gwasoosewo na kyoto abayizi mwe baabanguliddwa era ng’akabonero akanyweza obumu ne bannazambogo okuva e Kakeeka beetabye ku mukolo guno.
Ssentebe omuggya, Julius Lwebuga addidde Elvis Kasule mu bigere agamba nti atandikira ku nsonga y’abayizi abafuna bbasale za Buganda kyokka ne batayingira mu Nkobazambogo. Era n’alabula ng’omuyizi aneeyisanga obubi bw’ajja okuggyibwako bbasale.
Omuyima omuggya ow’ettendekero lino ye Owek. Rashid Lukwago ng’azze mu bigere bya Namazzi Norah. Mu kwogera kwe ono yennyamidde ku mpisa ezidobonkanye mu bavubuka era n’asaba abazadde okutasuulirira buvunaanyizibwa bwabwe.
Ate ye omumyuka wa Cansala w’ettendekero lino, Prof. Umar Kasule akuutidde abayizi bulijjo okusobola okutuukiriza olugero lwa Nkobazambogo nga basala amagezi okuvvuunuka obuzibu bwe basanga.
Ppookino Jude Muleke nga ye yabadde omugenyi omukulu ayozaayozezza abaalondeddwa era n’abajjukiza nga Nkobazambogo w’efulumya abakulembeze abalimu ensa era nga Nkobazambogo kitegeeza mpisa, okukola ennyo n’okwagaliza abalala.