
Bya Betty Namawanda
Masaka – Buddu
Omubaka akiikirira abantu b’ekitundu kya Kimaanya Kabonera mu Palamenti, Dr Abed Bwanika, avuddeyo n’alaga obwetaavu obwa Uganda okudibya olulimi Oluzungu lw’agamba nti luzing’amizza nnyo enkulaakulana ya Uganda n’emirimu.
Bwanika okwogera bino asinzidde ku Laroza Resort Garderns mu Masaka ku mukolo ogutegekeddwa eyavuganya ku kifo kye Bukoto South mu Lwengo n’awangulwa, Ssentamu Julius kwe yeebalizza Katonda okumuyisa mu kalulu.
Dr Abed bwanika ategeezezza nti abantu baakifuna mu bukyamu okulowooza nti okwogera n’okumanya Olungereza bwe bugunjufu, era ono aweze nti olutuuka mu Palamenti waakwanja ekiteeso ekigaana bannayuganda okwogera Olungereza.
Ono agamba nti ekiseera kituuse ennimi za wano ziweebwe ekyanya era ne Palamenti eteese mu nnimi ennansi.
Abed Bwanika akikkaatirizza nti okumanya Oluzungu kizibu eri eggwanga, ababaka bangi tebagenda kutawaana kuteesa mu apalamenti olwokuba tebalumanyi nga bano bakuddukayo.
Bwanika annyonnyodde nti Buganda erina ekizibu ky’abakulembeze abeekibogwe ng’entabwe eva ku butasoma n’asaba abazadde okuweerera abaana.
Ono era asinzidde wano n’akyasanguza nti waakugenda mu woofiisi yonna eri wano mu Uganda kukolagana n’aliyo okusobola okusakira abantu be kasita ssaako n’okulaakulanya ekitundu kye.
Ono era avumiridde abalowooza nti omuntu bw’alwanirira ebintu ebiruma Buganda n’okulaga abantu nti Muganda, olwo aba afuuse musosoze.
Ye Ssentamu Julius asabye abakulembeze abalondeddwa okussa ebyobufuzi ebbali baweereze abantu era bafube okulaba nga batumbula embeera z’abantu mu kitundu kino.









