
Bya Francis Ndugwa
Kampala
Mukuumaddamula wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, asabye gavumenti okutunula mu bantu abalina emmundu era balondoole n’engeri abazirina gye bazikozesa.
Bino Kamalabyonna abyogeredde mu kulambula abadde Minisita w’ebyenguudo mu gavumenti eyaawakati, Gen. Katumba Wamala, ali mu kujjanjabwa mu ddwaliro lya Medipal e Kololo oluvannyuma lw’okulumbibwa abatemu.
“Emmundu n’enkozesa yaazo yeetaaga okutunulwamu, abatateekeddwa kuba na mmundu baleme kuba nazo ate n’abazirina bazikozese mu ngeri entuufu egoberera amateeka.” Owek. Mayiga bw’asabye.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti abantu bangi bazze battibwa mu ngeri eno naye abasinga tebamanyibwa kubanga sibamanyifu n’asaba gavumenti okusitukiramu bakwate abatemu bano basobole okuvunaanibwa mu mateeka.
“Gavumenti erina omulimu munene nnyo okuyigga abantu abakola ebintu bino okubakwata n’okubateeka mu mbuga z’amateeka kubanga abantu emitima gibeewanise nnyo.” Owek. Mayiga bw’agasseeko.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Gen. Katumba, abasawo bamujjanjabye era ng’embeera ye ewa essuubi ddene nti ajja kussuuka era ne yeebaza aba boodabooda abaakoze buli kimu okuddusa Gen. Katumba mu ddwaliro.
Kino kiddiridde abazigu b’emmundu okulumba Gen. Katumba ne bakuba emmotoka ye amasasi agasse muwala we Brenda Nantongo ne ddereeva we, Haruna Kayondo e Kisota -Kulambiro mu Kampala jjo ku Lwokubiri.









