Bya Ssemakula John
Kampala
Omwogezi w’eggye lya UPDF, Brig. Gen. Flavia Byekwaso, agamba nti waliwo essimu ezaakubiddwa nga zoogera ku bintu ebyefaananyiriza ku njega eno eguddewo enkya ya leero mwe balumbidde Gen. Katumba Wamala wadde nga zaabadde tezisonga butereevu ku Gen. Katumba.
Bino Omwogezi w’amagye Byekwaso abyogeredde ku ddwaliro lya Medipal mu Kampala bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku njega eno.
Byekwaso agamba nti baakutandikira ku ssimu zino okuzuulira ddala ekituufu n’okulaba oba essimu zino ezaakubiddwa ze zimu ku zaabadde emabega w’olukwe luno.
Okusinziira ku mwogezi w’amagye, Gen. Katumba Wamala, mu kiseera kino embeera ye tetiisa oluvannyuma lw’okukubwa amasasi abiri mu mukono gwe ogwa kkono ne ddyo wadde nga muwala we Brenda Nantongo n’omukuumi we tebasobodde kusimattuka.
Byekwaso annyonnyodde nti baatandise dda okunoonyereza ku nsonga eno era mu bwangu bajja kuba banjulira eggwanga alipoota erimu ebisingawo.
Ku kya bannayuganda ababadde babuuza lwaki Gen. Katumba Wamala tabadde na mmotoka emuggulira kkubo okubeera abakuumi, Byekwaso agamba nti ky’amanyi ku ddaala lye nga Genero alina okubeera n’emmotoka eno era mu kiti kye nga Minisita era alina okubeera nayo.
Byekwaso agamba nti Gen. Katumba Wamala ye yekka ayinza okubuulira eggwanga lwaki talina mmotoka eno wadde waliwo ebigambibwa nti Gen. Katumba Wamala yennyini ye yagigaana.
Ono asabye bannayuganda buli omu afuuke wa byakwerinda basobole okuwa amawulire ku bantu be babeera beekengedde era n’ategeeza nti abeebyokwerinda bakola buli kimu okulaba ng’emirembe gibukala mu ggwanga.