Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti omuggya, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba, alaze okutya ku mutindo gw’ababaka b’oludda oluvuganya abagenda okuteesa mu Palamenti y’e 11.
Mpuuga bino abyogedde enkya ya leero ku Mmande n’ategeeza nti wadde nga Opozisoni omuwendo gwabwe mutono naye ky’asinze okutya gwe mutindo n’engeri ababaka abalonde gye bagenda okubaganyaamu ebirowoozo.
“Eky’omuwendo gw’ababaka ba Opozisoni sikitidde naye okutya kwange kuli ku mutindo gwa kukubaganya birowoozo ababaka gwe bagenda okwolesa. Kyesaba be babaka ku ludda oluvuganya okuyimusa omutindo, kino kisobola okutugulira obuwagizi ne tufuna abatwegattako.” Mpuuga bw’agambye.
Owek. Mpuuga ategeezezza nti balina ekkatala nga Opozisoni okukuba ttooci mu biteeso byonna ebireetebwa mu Palamenti tulabe nga bannayuganda bafunamu.
Ono asabye ab’oludda oluvuganya okwegattira awamu kibasobozese okutuukiriza ebyabatumwa bannayuganda. “Bwe tubeera obumu ng’oludda oluvuganya, kimanyi bulungi tusobola bulungi okulwanyisa gavumenti eno egezaako okulemesa enkola y’ebibiina by’obufuzi ebingi.” Mpuuga bw’annyonnyodde.
Agasseeko nti okusobola okuwangula gavumenti eno, ab’oludda oluvuganya balina okukomya okwemanya eryanyi batandike okukolera awamu.
“Nga NUP, tetunoonya bayima naye twagala abantu be tusobola okukolagana nabo mu lugendo luno.” Mpuuga bw’akkaatirizza.
Okusaba kwa Mpuuga kujjidde mu kiseera nga ab’oludda oluvuganya naddala aba Forum for Democratic Change balumiriza ekibiina kya NUP okubalyamu olukwe mu kulonda kwa Sipiika wa Palamenti okwakaggwa.
FDC egamba nti bannakibiina kya NUP baaguliriddwa aba NRM era okukkakkana nga be balonze.
Ku kino Ssemujju Nganda ng’ono yavuganyizza ku kifo kya Sipiika agamba nti okusinziira ng’ebintu bwe bitabula olunaku lumu aba NUP bajja kwesanga bawagidde Museveni ku bwapulezidenti nga bagezaako okunyiiza aba FDC.