Bya Betty Namawanda
Buddu – Masaka
Omusumba w’essaza ly’Eklezia Katolika ery’e Masaka, Serverus Jjumba, atabukidde abantu abakyaleddemu ebikolwa eby’okweraguza ssaako okusamira mu kifo ky’okweyuna amasinzizo ne batendereza omutonzi.
Omusumba Jjumba okwogera bino yasinzidde mu kigo ky’e Buyaga mu Disitulikiti y’e Masaka ku mukolo gw’okutema evvuunike okuzimba enju y’abasoserodooti esookedde ddala ku kigo kino ekikyali ekipya era nga ku mukolo guno kwabaddeko n’okusonda ssente ez’okudduukirira enteekateeka eno.
Emikolo gino gyatandise n’ekitambiro ky’emmisa era Omusumba Jjumba yasinzidde wano n’asaba abakristu okudda eri Katonda kuba kino kye kibalemesezza okukulaakulana.
Ono yasabye abazadde n’abaana okunnyikiza enkola y’okusoma Sappule nga beesingira ku Bikira Maria omuwolereza w’ekigo kino.
Omusumba Jjumba era yawabudde abakrisitu okunyweza enkolagana ssaako n’okuyambagana kubanga kino kyokka kye kigenda okuyamba okusobola okunnyikiza obumu ssaako n’okukulaakulanya abantu ba Katonda
Ye Ssaabakristu w’essaza ly’e Masaka, Regina Kitaka, yasabye abavubuka obuteesamba Klezia w’Omukama wamu n’okusaba abatuuze okukozesa ekigo kino obulungi.
Rev. Fr. Nestus Mugisha bwannamukulu w’ekigo ky’e Buyaga yategeezezza nti abasoserodooti tebalina we basula, era nga batandise omulimo gw’okubazimbira ennyumba ku kigo kino kibasobozese okwanguyirwa obuweereza bw’Omukama.
Ennyumba eno yaakuwemmenta obukadde 430 era nga ya kkalina myaliiro 2. Obukadde 24 bwe busondeddwa mu mpeke ssaako n’abasuubizza era ngomulimu guno nga guwedde baakutandika obuzimba Eklezia.