Bya Ssemakula John
Kampala
Abantu ba Ssaabasajja abawangaalira mu ssaza ly’e Bugerere, baweereddwa amagezi okukuuma ettaka lyabwe eri bannakigwanyizi nga banyweza obusenze bwabwe n’okukolerako pulojeketi ez’okwekulaakulanya.
Obubaka buno bubaweereddwa Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka, Omukungu Moses Luutu bw’abadde atikkula abantu ba Kabaka okuva mu ssaza Bugerere mu ggombolola ya Mumyuka Kayunga, Amakula mu Lubiri e Mmengo.
Abantu ba Ssaabasajja okuva mu ssaza lye ery’e Bugerere mu ggombolola ya mumyuka Kayunga olwaleero, be bakedde okukiika Embuga okutuukiriza ennono y’okuleeta Amakula.
Bano bakulembeddwamu omwami atwala eggombolola eno, George William Ssembogo ng’ali wamu n’abaweereza ba Kabaka ku mitendera egyenjawulo n’abakulembeze mu gavumenti eyaawakati. Omuk. Moses Luutu Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka, bano abatikkudde Amakula era wano w’asinzidde n’awa abantu ba Kabaka amagezi okunyweza ettaka lyabwe nga bayita mu kunyweza obutuuze bwabwe ku ttaka eryo, okwewala okutwalibwa bannakigwanyizi. Mu ngeri yeemu, Omuk. Luutu abakubirizza bulijjo okunnyikiza ennono n’obuwangwa mu miti emito kubanga ly’eggwanga eryenkya.
George William Ssembogo omwami wa Kabaka atwala eggomboolola eno, aloopedde Katikkiro w’Ebyalo, abantu mu ggombolola yaabwe abeefunyiridde okulwanyisa enteekateeka z’Obwakabaka nga kino kizing’amya emirimu.
Ssentebe wa LC 5 mu Kayunga disitulikiti Ffeffekka Sserubogo y’omu ku bakiise Embuga era ono aweze okukola okufunvubira okulwanirira ebintu by’Obwakabaka wamu n’abantu be abazze banyagibwa ebyabwe.
Bano baleese; ebisolo, emmere n’ebintu ebirala era mu kaweefube Obwakabaka gwe buliko ow’okuzzaawo obutoinde bw’ensi, bagabiddwa endokwa z’emiti ginnansangwa n’ebibala okugibunyisa mu ssaza lyabwe.