
Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka-Buddu
Mmeeya omuggya ow’ekibuga Masaka, Florence Namayanja wamu ne bakkansala, balayiziddwa era ne batandikirawo okukola mu butongole.
Omukolo ogubadde ku kisaawe kya Sports Arena e Kitovu era nga bannaddiini okubadde Bishop Serverus Jjumba n’amyuka Disitulikiti Kadhi we Masaka, Sheikh Sulait Ssentongo be bawonze Mmeeya Namayanja ne banne eri Omukama.
Omukolo gw’okulayiza gukulembeddwamu omulamuzi w’eddaala erisooka Christine Nantege ng’ayambibwako ttawuni kkiraaka, John Behangaana. Mmeeya Namayanja nga y’asoose okukwata ekifo kino okuva Masaka lwe yafuulibwa City, alayidde ne bakkansala 16 era n’akwasibwa ebintu ebinaamuyambako okutambuza emirimu.
Omukolo guno gwetabiddwako Ppookino Jude Muleke era n’asoma obubaka bwa Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika.
“Tukusaba ng’oli ne ttiimu yo muzimbe ekibuga ekiggyayo ekitiibwa kya Buganda nga mugoberera enteekateeka ennung’amu ate nga mwewala obuvuyo ku buli ngeri” Ebyo bye bimu ku bibadde mu bubaka bwa Ssaabawolereza wa Buganda, owek. Bwanika.
Oluvannyuma Ppookino Muleke mu bubaka bwe abalayidde abakuutidde okusoosowaza abaliko obulemu wamu n’okukuuma obutonde bw’ensi.
Mmeeya abaddeko Kayemba Afaayo ategeezezza nti ekibuga kino kigagga nga kirina ebyapa by’ettaka 88 ssaako n’ebyobugagga ebirala era nga Masaka erina enkolagana n’ebibuga ebirala mu nsi ez’enjawulo era n’amukuutira okukuuma enkolagana eyo.
Namayanja asiimye bannamasaka olw’okumuteekamu obwesige era n’asuubiza okutema empenda z’okukulaakulanya ekibuga kino kituukane n’omutindo.
Ono alayidde okulwanyisa enguzi ku mitendera egy’enjawulo, bannamasaka basobole okuganyulwa mu kibuga kino.
Oluvannyuma kkanso etudde omulundi ogusookedde ddala era n’eronda Ssempijja Tonny munnakibiina kya NUP ssaako n’omumyuka Nanyunja Irene bakubirize entuula zaayo.








