• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ab’e Kkooki basattira lwa mwalo kusenguka

Gambuuze by Gambuuze
May 18, 2021
in Amawulire
0 0
0
0
SHARES
118
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Betty Namawanda
Rakai – Kkooki

Wabaluseewo akasattiro ku mwalo gw’e Kalunga mu ggombolola y’e Kyalulangira mu disitulikiti y’e Rakai mu ssaza lya Kabaka ery’e Kkooki, oluvannyuma lw’abatuuze okukeera ng’omwalo gwabwe gusenguse ekireeseewo obweraliikirivu mu batuuze.

Entambula yasannyaladde mu kitundu kino ng’enguudo ezimu mu kitundu kino okuli oluva e Rakai okutuuka e Kibaale okusalwako amazzi. Wano abatuuze we basinzidde okutegeeza nti kirabika omwalo guno gwasengukidde mu kitundu kyabwe kuba embeera eno tebagirabangako.

Embeera eri ku mwalo gw’e Kalunga ya nnyiike era eno abatuuze basabye gavumenti ebayambe kuba omwalo guno lwe lubadde olusuku lwabwe nga mu kiseera kino balina okutya olw’ebbula lya mazzi eriyinza okubalumba ate ng’abasinga balunzi.
Abatuuze balumiriza nti omwalo guno gwabadde gukubyeko amazzi naye kyabeewuunyisizza okukeera ku makya ng’ebyennyanja bibembedde ku ngulu.

“Kirabika abamu ku bavubi basobya omwalo guno bwe bakoleramu ebya mbyone , ekintu ekyanyiiza emisambwa ne kiviirako ennyanja okusenguka.” Abamu ku batuuze bwe bategeezezza.

Mu ngeri yeemu abatuuze abalala bagamba nti kino kizze kibeerawo enfunda eziwera ng’ennyanja esenguka kyokka oluvannyuma lw’ekiseera n’ekomawo era nga bagumu nti ne ku mulundi guno ejja kudda.

Ye mwami wa Kabaka atwala eggombolola y’e Kyalulangira Mutuba I, Mwanje Paul, alaze okusoomoozebwa abantu ba Ssaabasajja Kabaka kwe boolekedde mu kiseera kino ng’omwalo ogubadde gubayimirizaawo gusenguse omuli ebbula ly’amazzi n’ebirala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist