Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka-Buddu
Abavubuka ba Buganda abeegattira mu kibiina kya Nkobazambogo Akalibaakendo mu kitundu ky’e Buddu, babanguddwa ku bukulembeze awamu n’empisa ez’obuntubulamu era n’engeri gye basobola okulwanirira Obwakabaka bwabwe.

Ekibiina ky’abayizi kino ekibuna amasomero agawera 157 mu Buddu, eggulo ku Ssande baasoose kubangulwa n’oluvannyuma ne bakyusa obukulembeze mu bibiina byombi okuli Akalibaakendo ne Nkobazambogo.
Omuyima wa Akalibaakendo mu ggwanga era ng’atuula ku kakiiko akalondesa ebibiina by’abavubuka mu Bwakabaka, Omulangira Nyabongo Ssansa Victor, agamba nti okukyusa obukulembeze kikulu era nga kati buli kye bakola bagoberera ennambika eyabagibwa gye buvuddeko emanyikiddwa nga Youth Policy.
“Tulonda obukulembeza nga tusinziira mu nnambika eyo eyatuweebwa nga tuva mu masomero, tudde mu magombolola oluvannyuma tudde mu masaza. Ku lukiiko olw’eggwanga lyonna amasaza agamu bagagaza abakiise 6, agamu 9 nga Buddu ate amalala nga Kyaddondo n’e Kyaggwe bagagaza abakiise 12 buli limu naye nga bonna ba ssentebe.” Omulangira Ssansa bw’atyo bwe yategeezezza. Ono era agamba balina okwagazisa abavubuka Obwakabaka nga bamanya nti Kabaka kye kifundikwa kyabwe era nga Katikkiro ye mukulu waabwe abakumaakuma.
Ssentebe wa Baganda Nkobazambogo Akalibaakendo mu Uganda, Lubyayi Adrian Abraham, yannyonnyodde nti Nkobazambogo ly’eggye lya Kabaka ezzibizi eririna okulwanirira Nnamulondo nga liyimiriza ssaako n’okuvumirira abo bonna abatyoboola Nnamulondo naddala abo abatyoboola abakulembeze abalondebwa Kabaka. Oluvannyuma abeegwanyiza ebifo baasunsuddwa era gye byaggweeredde ng’akakiiko k’abantu 10 kaalondeddwa nga Kisekka John omuyizi mu Blessed Sacrament Kimaanya, yalondeddwa ku kya ssentebe bwa Baganda Nkobazambogo Akalibaakendo mu Buddu.
Ate Ssenfuka Uthuman yalondeddwa okubeera ssentebe w’abayima ba Nkobazambogo Akalibaakendo mu Buddu era ono agambye nti essira agenda kulissa mu kuteekesa empisa mu bavubuka ng’alwanyisa enkozesa embi ey’emitimbagano, kitaase empisa okusiiwuuka.









