• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Tusaba gavumenti etuwe Ebyaffe mu kisanja ekijja-Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
May 10, 2021
in Amawulire
0 0
0
Tusaba gavumenti etuwe Ebyaffe mu kisanja ekijja-Katikkiro Mayiga
0
SHARES
59
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Stephen Kulubasi

Bulange-Mmengo

Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, asabye gavumenti okuwa Buganda ebintu byayo by’ebanja kuba ensonga eno ekandaaliridde.

Okwogera bino, Owek. Mayiga asinzidde mu Lukiiko lwa Buganda leero ku Mmande, bw’abadde ayogerako ku mbeera nga bw’eyimiridde mu Bwakabaka.

Ku nsonga y’Ebyaffe, Owoomumbuga ategeezezza abakiise nti Buganda ebanja gavumenti ensimbi ezisoba mu buwumbi 200 okuva mu bupangisa, wabula tebafunangako wadde ennusu kyokka ng’abalala abapangisa gavumenti ebizimbe, bazze basasulwa.

“Tunoonya ssente, Kabaka awerere abaana, ajjanjabe abantu be wamu n’okukola emirimu gy’Obwakabaka emirala, era tubanja gavumenti ensimbi ezisoba mu buwumbi 200 okuva mu bupangisa. Abasinga babasasudde naye ffe tebatusasula. Kino kigenderere?” Owek. Mayiga bw’abuuzizza.

Owek. Mayiga agamba nti Buganda ebanja gavumenti ensimbi za mirundi esatu nga mulimu ez’obupangisa (obuwumbi 215 n’omusobyo), ezaalagirwa kkooti zisasulwe Obwakabaka n’ezo ezitannaba kukkaanyizibwako.

Kamalabyonna Mayiga era asinzidde mu Lukiiko, n’asaba gavumenti eggye ensonga ya Federo mu ddiiro, ekyo nakyo kiveewo kubanga kikandaalidde.

Ku nsonga y’ettaka, Owek. Mayiga akubye ebituli mu tteeka ly’ettaka eriri mu Palamenti, n’asaba abakulu okumanya nti obuzibu tebuli ku ttaka kubeera lya mayiro ng’alipoota y’akakiiko k’Omulamuzi Catherine Bamugemereirwe bwe yalaga. Akkaatirizza nti Obwakabaka tebuwagira nsonga eno.

Ono alaze ensonga enkulu ezirina okutereezebwa, ensonga y’ettaka bw’eba yaakutereera omuli; okukola ku bunafu mu poliisi, mu kitongole ekiramuzi, obungi bw’abantu okweyongera, okukaddiwa kw’ettaka wamu n’okuyingiza ebyobufuzi mu nsonga y’ettaka.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, singa ensonga zino zitereezebwa, endooliito ku ttaka zijja kutereera.
Owek. Mayiga asabye gavumenti ya Pulezidenti Museveni okwettanira ebyo ebyagireetera okuganja omuli, enfuga etambulira ku mateeka n’eddembe ly’obuntu.

Wano agasseeko okusaba gavumenti okwekuba mu kifuba eyimbule abaasibibwa olwensonga z’ebyobufuzi. Agambye nti waakiri batwalibwe mu kkooti bafune obwenkanya, emisango nga bwe ginoonyezebwako, kimalewo obunkenke.
Owek. Mayiga asabye gavumenti n’abalondeddwa basoosowaze nnyo ensonga ezikwata ku bantu baabulijjo omuli okulwanyisa obwavu n’obuli bwenguzi obukudde ejjembe.

Luno lwe lubadde olukiiko olw’abiri mu omunaana olutuula olwokubiri. Luno we lujjidde nga Katikkiro Mayiga agenda kuweza emyaka munaana (8) bukya akwasibwa Ddamula okulamulirako Ssaabasajja Obuganda.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.