Bya Ssemakula John
Masaka – Buddu
Ekikangabwa kibuutikidde ekyalo Kasijagirwa ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara enkya ya leero, abantu abawera 14 bwe bafiiridde mu kabenje.
Okusinziira ku poliisi, akabenje kano kagudde ku kyalo Kasijagirwa okuliraana essundiro ly’amafuta eriyitibwa Gaz era nga keenyigiddemu emmotoka 2 nnamba.
Abeerabiddeko bategeezezza nti akabenje kano kavudde ku mmotoka y’ekika kya bbaasi etategeerekese nnamba ebadde eva e Mbarara okugezaako okuyisa ttuleera nnamba T433BDY/T877DWZ ng’eva Kampala era wano ddereeva wa Ttuleera emulemeredde n’ayingira takisi endala nnamba UBC 995C.
“Akabenje kaguddewo ku nkya mu nkuba ebadde etonnya era etulemesezza okutaasa obumu ku bulamu bw’abantu bano era abamu baddusiddwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi era emagombe bajja kusimbayo kitooke,” Omu ku batuuze Annet Lubwama bw’ategeezezza.
Okusinga abafudde babadde batambulira mu takisi eno ebaddemu abantu 15. Okusinziira ku batuuze poliisi n’ekitongole kya Red cross bakoze buli kimu okutaasa obulamu bw’abantu bano.
Akulira wa poliisi y’ebidduka mu bbendobendo lino agamba nti abantu 13 be basobodde okukakasa nti bafiiridde mu kabenje kano so si 14.
Ye ayogerera poliisi mu kitundu kino, Muhammad Nsubuga, annyonnyodde nti bakyagenda mu maaso n’okutaasa obulamu bw’abo abakoseddwa era bakola buli kimu okuzuula ebibakwatako kuba abasinga tebabadde na mpapula.
Agamba akabenje kavudde ku kuvugisa kimama nga ddereeva wa takisi ye afiiriddewo wamu abamu bakoseddwa nnyo nga bamenyese amagulu n’emikono era mu kiseera kino bajjanjabwa mu ddwaliro ekkulu e Masaka.