Bya Betty Namawanda
Rakai – Buddu
Abatuuze abasoba mu lukumi ku byalo bibiri okuli; Kyakago ne Kasese mu disitulikiti y’e Rakai mu Buddu, emitima gibeewanise olwa munnamagye ge bagamba nti aliko bannaabwe bayiseemu okwagala okwezza ettaka lyabwe lino kwe bamaze emyaka n’ebisiibo.
Bano bagamba nti ettaka lino erisoba mu yiika 600 lyali lyateekebwako envumbo naye beewuunyizza omulamuzi wa kkooti esookerwako e Rakai, Patrick Kityo, okugiggyako nga tasoose kubawuliriza era n’awa olukusa, Fred Kazungu, Erias Ndawula ne Emmanuel Gakwandi, okwerula empenda zaalyo kye bagamba nti tekyabadde kya bwenkanya.
Abatuuze bano nga bakulembeddwa ssentebe w’ekyalo Kasese, Matia Ssebugenyi, balumirizza Munnamagye ali ku ddaala lya Captain, Godfrey Kalamazi, okukozesa abasajja bano asobole okugoba abatuuze ku ttaka lino.
Bano bakubye olukiiko olw’amangu ku Eklezia ye Kyakago, okutema empenda ku ngeri gye basobola okuva mu kizibu kino. Abatuuze era basinzidde mu lukiiko luno ne balumiriza amyuka akulira abakozi era omuwandiisi w’akakiiko k’ettaka ku disitulikiti, Edward Kamya, okuwaayo ettaka lino.
Wano omuwandiisi w’olukiiko lw’ekyalo kye Kyakago, Mudashir Ssentaayi, agamba nti ekikolwa kya kkooti kibaleetedde okutya ku ngeri kkooti ennaku zino gye zisalawo emisango gy’ettaka nga tebagenze kulaba kiri ku ttaka kuba lino liriko amasomero ga gavumenti, amasinzizo era nga tebamanyi kye bagenda kuzzaako.
“Ettaka lino kwetulundira ensolo zaffe kwe tulimira era tusaba omubaka omukyala owa disitulikiti eno, Juliet Ssuubi Kinyamatama, atukulemberemu atutwale ewa baminisita okuli; Beti Kamya , Persis Namuganza ne Lt Nakalema, balemese abantu abafere abaagala okutunyagako ettaka lyaffe.” Abamu ku batuuze bwe basabye.
Bo abamu ku basomesa mu ssomero lya Kyakago primary school bagamba nti beeralikirivu ku biyinza okuddako kuba abazadde abamu batandise dda okuggya abayizi mu masomero agatudde ku ttaka lino.
Omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Rakai, Juliet Ssuubi Kinyamatama, yabasabye basigale bumu era ne yeeyama okukola buli kimu okulaba nga basigala ku ttaka lino era n’asuubiza okujulira mu kkooti ku nsonga eno.
Ye amyuka akulira abakozi e Rakai, Edward Kamya era nga ye muwandiisi w’olukiiko lw’ettaka mu disitulikiti gwe balumiriza okubeera emabega w’ababbi b’ettaka, yeegaanye ebimwogerwako n’ategeeza nti bamukonjera kuba we yayingirira mu woofiisi mu 2018 yasanga ettaka lyagabwa dda mu 2014 nga byonna ebyakolebwa talina kyamanyi.
Amyuka omubaka wa Pulezidenti e Rakai, Justine Muhindo era nga naye abatuuze bamulumirizza agaanye okubaako ky’ayogera ku nsonga zino.
Ye munnamagye Captain Godfrey Kalamuzi, agambibwa nti okunyaga ettaka ly’abatuuze bano gye buvuddeko, yategeezezza nga bw’atalina nteekateeka zonna zigobaganya bantu ku ttaka wabula ayagala kwerula mpenda alabe ettaka lye we liyitira.