Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka – Buddu
Omusango oguvunaanibwa Mufti Shiekh Shaban Mubajje ne banne ku by’okutunda ettaka ly’Obuyisiraamu e Ssembabule, gwatandise okuwulirwa olunaku lw’eggulo mu kkooti e Masaka.
Ettaka eryogerwako liweza mayiro 2 nga lisangibwa ku block 31A ku kyalo Bukiragyi mu disitulikiti y’e Ssembabule.
Abayisiraamu nga bakulembeddwamu Hajji Yasin Lubowa, Sheikh Mutazindwa , Sheikh Juma Mukiibi ne bannaabwe abalala be baatwala Mufti Ramathan Mubajje, Mugalu Ramathan, Kayanja Arthur eyagula ettaka lino awamu ne Uganda Muslim Supreme Council mu kkooti nga babavunaana okutunda ettaka ly’Obusiraamu mu makwetu.
Mubajje ne banne bwe bavunaanibwa wadde baabadde basuubira mu kkooti eno naye tebaalabiseeko era ekyaddiridde be bapuliida okusaba omulamuzi abakkirize ensonga bazimalire wabweru wa kkooti. Munnamateeka w’oludda oluwaabi, Lukawa Bashir, yategeezezza kkooti nti abawawaabirwa bonna baaweebwa empapula ezibayita mu kkooti awatali kwe bulankanya.
Lukawa yayongedde n’asaba omulamuzi asooke alambule ettaka lino eryogerwako era alagire n’abawawaabirwa baweeyo ekyapa ky’ettaka lino mu kkooti.
Ono yagambye nti bakkiriziganyizza okuteekawo omwaganya beegeyeemu ku nsonga zino wabweru wa kkooti.
Wabula munnamateeka w’abawawaabirwa, Sam Ssekyewa, wadde yakkiriza eky’okutabagana wabweru wa kkooti naye yagaanye eky’okuwaayo ekyapa mu kkooti.
Wano Omuwandiisi wa kkooti enkulu, Agnes Nkonge, we yategeerezza nti kkooti egenda kutegeka fayiro y’omusango guno egiwe omutabaganya era singa bano banaalemwa okukkaanya ku kuwaayo ekyapa n’okulambula ettaka omulamuzi ajja kusalawo eky’enkomeredde ku nsonga eno.
Abayisiraamu ab’enjawulo nga bakulembeddwamu Sheikh Siraje Mudde akulira akakiiko akakola kukunulula emmaali y’Obuyisiraamu, boogedde ku nsonga eno ne bategeeza nti bo ekigendererwa kyabwe si kyakuwaabira Mubajje wabula baagala kunnunula bintu bya Busiraamu ebyatundibwa mu mancooro kye bavudde bawagira enteeseganya.
Bano beewuunyizza engeri ettaka lino gye lyatundibwa nga ate baali balinako omupangisa nga n’ekiseera kye kyali kikyaliko. Kati bagamba nti kye kiseera bannunule ettaka lyabwe basobole okulyekulaakulanyiza.
Omulamuzi omusango yagwongeddeyo okutuuka nga 10/6/2021.