Bya Musasi Waffe
Mutabani wa Minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga, Sam Kuteesa, Ingah Kutesa, alondeddwa ng’omubaka wa Oman mu Uganda, ekintu ekireeseewo abamu okwemulugunya ku kya famire eno okumaamira ebifo eby’enjawulo.
Ingah, ng’ono musuubuzi yeegasse ku mwannyina Ishta Kutesa Muganga naye eyalondebwa omwaka oguwedde okukiikirira eggwanga lya Isreal mu Uganda era omwaka oguwedde empapula ze yazitwalira Minisita Okello Oryem.
Kino kituwalirizza okutuukirira aba Minisitule y’ensonga z’ebweru okumanya ababaka bano bwe balondebwa.
Omu ku bakungu mu Minisitule eno atayagadde kumwatuukiriza mannya ategeezezza nti bano okulondebwa balina okusembebwa abantu abakulu mu mawanga gye babeera bava.
“Ensonga ziwerako ezitunuulirwa naye esinga obukulu bwe busobozi bw’oyo agenda okulondebwa. Abantu bamaanyi wamu n’ebikonge by’amaanyi.” Omukungu ono bwe yagambye.
Ate bo abatunuulira ensonga z’amawanga ag’ebweru bagamba nti eky’abaana ba Kuteesa okutwala ebifo bino kireetawo ebibuuzo ku busobozi bwabwe awamu n’engeri gye balondebwamu.
Kinajjukirwa nti Minisita Sam Kuteesa y’omu ku bantu abaludde mu by’obufuzi bya wano ng’abimazeemu emyaka 40 era omwaka oguwedde yalaga nga bw’atagenda kudda kuvuganya ku bubaka bwa Mawogola bw’abaddeko okuva mu 1996 era n’asaba abalonzi okulonda muwala we Shartsi Kuteesa.
Wadde ekifo kino tekijja na musaala naye kiggulawo enzigi z’oyo abeera alondeddwa era kimuwa emikisa mingi egisinga n’omusaala obusava.
Kyategeerekese ng’okulondebwa kwa Ingah Kuteesa kwalangiriddwa Minisita wa Oman akola ku nsonga ez’ebweru, Badr Albusaidi.
Ingah Kuteesa wiiki ewedde yawaayo ebimwogerako ewa Minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru Okello Oryem era ono yamuyozaayoza era namusaba okutumbula enkolagana wakati w’amawanga gombi.