Bya Musasi Waffe
Kampala
Kkampuni ya I&M Holdings eguze Orient Bank Limited era bano batadde omukono ku ndagaano ne bagula emigabo egiwera ebitundu 90 ku buli 100 egya bbanka eno.
Okugula emigabo gino kwakomekkerezeddwa nga 30 April 2021 oluvannyuma lw’okufuna olukusa okuva mu bbanka ya Kenya enkulu, Capital Markets Authority of Kenya ne COMESA Competition Authority.
Ssenkulu wa kkampuni wa I&M, Sarit Raja Shah agamba nti kino kyongedde okulaga bwe beetegese okugaziya empeereza mu buvanjuba bwa Afirika.
Shah agattako nti okugula Orient Bbanka kigenda kubayamba okwongera okukola amagoba wamu n’okuweereza bannansi mu kitundu kino.
Oluvannyuma lw’okutwala Orient, I&M G egasseeko amabanja bbanka eno g’ebadde ebanja agawera obuwumbi bwa ssiringi 262. Ssente z’etereka eziwera obuwumbi bwa ssiringi 606, bakasitoma emitwalo 7, abakozi 340 n’amatabi 14 ate obuuma bwa ATM obuwera 22 mu ggwanga lyonna.