Bya Ssemakula John
Kampala
Bannalotale abeegattira mu disitulikiti etwala Uganda ne Tanzania nga bakulembedwamu abe Mmengo bawadde Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ejjinja ery’omuwendo okumusiima olw’okukyuusa embeera z’abantu mu Buganda.
Bano eyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima nakwata omumuli gw’okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya ng’ali wamu n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulwanyisa Mukenenya mu nsi yonna ekya UNAIDS.
Kulwa Nnyinimu ejjinja lino likwasiddwa omulangira David Kintu Wassajja, omuzaana Marion Nankya, omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lwa buganda owek Hajji Ahmed Lwasa wamu n’omukubiriza w’olukiiko lwabuganda eyawummula owek Nelson Kawalya.
Omulangira Wasajja yagambye nti, “ Kibeere eky’okulabirako eri abantu abalala okuyamba abantu baffe ffenna tusobole okubeera mu nsi eyeyagaza. Nziramu okweyanza abalotale ye Mmengo abawadde Ssaabasajja ekirabo kino wamu n’omulimu gwebakola okukyuusa obulamu bw’abantu. ”
Okusinziira ku Mulangira Wasajja Obwakabaka ne Lotale balina bingi byebafaananya nga enkola y’okuyamba abantu Buganda egiyita Bulungibwansi ate abalotale bagiyita ‘Above Self’.
Akulira Lotale ye Mmengo, Ernest Kavulu yeyanzizza Kabaka Mutebi II olwokukolera abantu be ng’ ayita mu kibiina kino.
“Kabaka yatuwa amaanyi era natusongera ku bwetaavu obuli e Kiyindi Najja eri mu Buikwe nga abantu baayo beetaaga okuyamba era netulwana okulaba nti tufunayo puloojekiti enayamba abantu baayo,” Kavulu bwe yagambye.
Munnalotale era Minisita w’obuwangwa, ennono n’obulambuzi mu bwakabaka owek.David Kyewalabye Male agamba nti kituufu omuntu akola obulungi asiimibwe era akubiriza abantu ab’enjawulo naddala abavubuka okwegata ku lotale bakyuuse embeera zabantu.
Kinajjukirwa nti Omuteregga alina enteekateeka ez’enjawulo ezigendereddwamu okukyusa embeera z’abantu nga atumbula eby’enjigiriza, eby’obulamu, ebyobulamu saako n’ebyenkulakulana.