Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asabye ababaka okubuulira abalonzi ebintu bye basobodde okukolera eggwanga nga National Resistance Movement (NRM), kiyambe okukendeeza ku bulimba obutambuzibwa ab’oludda oluvuganya.Wadde emabegako Pulezidenti Museveni yali yategeeza nga bw’ateeteega kubuulira bantu Birungi NRM byekoze, yeefukuludde eggulo ku Mmande n’asaba bannaNRM okulaga ensi ebikoleddwa gavumenti ye.
“Enkola yaffe nga bannansiko ey’okukola ebintu mu kasirise, tutandike okwogera ku ebyo bye tutuuseeko. Bino bye tubaddeko eby’okutulabira ku bikolwa byaffe erina okukoma tulabe twetutambula.” Museveni bwe yannyonnyodde. Museveni bwe yabadde akuba ttooci mu bituukiddwako mu kisanja ‘Hakuna Mchezo’ Manifesto 2016-2021 era n’alaga ebimu ku bintu ebisobodde okutuukibwako ebyetaaga okulagibwa ensi.
“Essaawa ya leero, Uganda etunda ebweru amajaani agaweza kkiro obukadde 60, ensawo z’emmwanyi obukadde 70, Obulimi bwa Ppamba bweyongedde ate nga n’ebyobulambuzi byali bituwa ensimbi mpitirivu nga Corona tannabalukawo.” Museveni bwe yagambye. Museveni agamba nti ebyenfuna byongera okukula buli lunaku kuba emmere yonna eyalimibwanga okuliibwa omuli amata n’ebirala byokka kati bifunibwamu ssente.
Ono akunze ababaka okuteeka essira ku kutondawo emirimu wamu n’okuyamba abantu ab’enjawulo okukulaakulana. Yasabye abantu okutandika okulima mu bungi basobole okutundako era bafube okugatta omutindo ku ebyo bye balima.
Mu kwogera kwe, Ssaabaminisita Ruhakana Rugunda alaze ebimu ku bituukiddwako mu kisanja Hakuna Mchezo omuli; okwongera ku bungi bw’amasannyalaze, okuzzaawo ennyonyi y’eggwanga, okukola enguudo ez’enjawulo wamu n’okutuusa amazzi amayonjo ku bantu.
Museveni yakuutidde ababaka abapya okugoberera era baagazise abantu enteekateeka za gavumenti ez’enjawulo, basobole okuyambibwako okweggya mu bwavu.