Bya Ssemakula John
Kampala
Obwakabaka bwa Buganda bwewaddeyo okuyimusa omulimu gw’okulima awamu n’okulunda okusobola okuganyula abantu ba Ssaabasajja Kabaka abeenyigira mu mirimu gino.
Okusinziira ku kitongole kya BUCADEF ekivunaanyizibwa ku bulimi n’obulunzi ku luno, amaanyi baakugateeka ku nnunda eyoomulembe, kiyambe abalunzi okwongera ku magoba gaabwe.
Okusobola okutuukiriza kino, aba BUCADEF bategese omusomo gw’abalunzi b’enkoko ku ggombolola ya Mituba III e Makindye, okwongera okuwa abalunzi obukugu.
Omukugu wa BUCADEF, Samuel Muwanga, agambye nti baagala abantu bonna bettanire okulunda naddala abo abali mu bibuga, kibayambe okufuna emmere awamu n’ensimbi.
Kino kiddiridde abalunzi okufuna okusoomoozebwa olw’emmere etali ya mutindo, okubulwa obukugu n’abasawo abayinza okubayambako olw’embeera eyaleetebwa omuggalo gwa Corona.
Okukozesa ennyo ebifo bye balina ne webiba bifunda okulaba nga beenyigira mu by’obulimi n’obulunzi
Amyuka Omwami w’eggombolola lino erya Makindye Mituba III, Rotarian Francis Anthony Lubowa, asabye Obwakabaka obutakoma ku misomo nga gino gyokka wabula bubateerewo ne gy’obusuubuzi basobole okukulaakulana.
Omusomo guno gwetabiddwako bannamikago abakolagana obuterevu n’Obwakabaka okubadde ab’ekitongole ekya URA n’abatabuzi b’emmere y’enkoko aba Ipmala Feeds.