Bya Betty Namawanda
Masaka- Buddu
Omubaka wa Pulezidenti e Masaka, Fred Bamwine, avudde mu mbeera n’ayambalira abazadde abawa abaana baabwe essimu, ssaako okubaleka ku TV nti kino kye kiviiriddeko abaana okwonooneka ensangi zino n’asaba Gavumenti okussaawo amateeka amakakali ku nsonga eno.
”Tekinologiya mulungi naye kisaana ne wateekebwawo amateeka amakakali agamufuga okusobola okukendeeza ku bikolwa ebimenya amateeka omuli ekisaddaaka bantu, obusiiwuufu bw’empisa n’ebirala kubanga abantu bangi babikoppa ku mutimbagano,” RCC Bamwine bwe yategeezezza
RCC Bamwine okwogera bino asinzidde ku Garden Courts Hotel esangibwa mu kibuga Masaka mu musomo agwategekeddwa ekitongole ky’obwannakyewa ekya Unwanted Witness- Uganda okumanyisa abantu ebikwatagana ku tekinologiya n’eddembe lyabwe nga bakozesa emitimbagano n’ebirala.
Mu ngeri y’emu Mmeeya wa Masaka, Godfrey Kayemba Afaayo, ategeezezza nti abantu obukadde 10 mu Uganda bokka be bakozesa tekinologiya mu ngeri gy’alina okukozesebwamu kyokka ng’ensi ekyukira ku misinde gya kizungirizi n’asaba wabeewo ekikolebwa okutereeza embeera.
Amyuka akulira poliisi n’omuntu wa bulijjo mu bbendobendo ly’e Masaka, Yahaya Lwagoba, ategeezezza nti weewaawo omutimbagano mulungi era ng’abaana balina eddembe okukozesa omutimbagano naye abazadde balina okufaayo ku ngeri abaana gye bagikozesaamu. Ku lwa bannamasaka, Swaibu Sulambaya, agamba nti ayagala tekinologiya akyusibwe adde mu nnimi ennansi, abantu ze bategeera.
Ye Dorothy Mukasa akulira ekitongole kya Unwanted Witness Uganda,akubirizza bannayuganda okukozesa eddoboozi lyabwe okusaba ababaka baabwe ababakiikirira mu Palamenti bulijjo okujjukira obuvunaanyizibwa bwabwe naddala mu kulwanirira omuntu wa wansi ku nsonga ez’enjawulo omuli omusolo ogubateekebwako n’ebirala.