Bya Jesse Lwanga
Kyaggwe
Abeekika ky’e Nsuma nga bakulembedwamu Katikiro waabwe, Peter Magoba Kayima n’abakungu ab’enjawulo okuli n’Omulangira Mathew Balagira kibondwe, batandise okusomesa abantu ku kirwadde kya Mukenenya okulaba nga kiggwaawo mu ggwanga.
Bano omusomo ogusoose baagukubye ku Destiny Primary School ku kyalo kigombya Mukono era nga gwetabidwamu abaana, abakadde wamu n’abavubuka era nga guno gugendereddwamu okubangula abantu mu ggwanga lyonna engeri gye bayinza okwewala ekirwadde kino.
Okusinziira ku Katikkiro w’ekika ky’Ensuma, Magoba Peter Kayima, agamba nti bagenze bafuna emisomo egy’enjawulo ne babangulwa ku kulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya.
Okusinziira ku bakulu b’ebyobulamu balina kaweefube okulaba nti omwaka gwa 2030 we gunaatuukira ekirwadde kya Mukenenya kijja kuba kifuuse lufumo. Magoba akubirizza abantu okwettanira obuuma omuntu bw’asobola okukozesa okukebera akawuka ka Mukenenya wonna w’abeera ali.
Asabye abantu abasangibwa n’akawuka okwewala okukasiiga abalala kiyambe okukendeeza ku muwendo gw’abakwatibwa.
Bo abatuuze abeetabye mu musomo guno baliko bye bannyonnyodde era nga bangi ku bo basimye Ssaabasajja okulengerera ewala nazza ebyobulamu ku mutendera ogusookerwako.
Omulangira we kika kye Nsuma Mathiew Balagira kibondwe nga yabade omugenyi omukulu mu musomo guno asiimye obumalirivu bw’abantu bwe balina eri Ssaabasajja era n’asuubiza okubakwtizako mu nteeekateka zonna.
Bino byonna bituukiddwako ng’ebula ennaku mbale okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 2 ag’emyaka 66 egyobuto era ekyoto kikumiddwa okulaga ekitangaala eri Obuganda . Kinajjukirwa nti ekirwadde kino ekya Mukenenya kikosezza nnyo eggwanga lino.